Lyrics

Chorus

Wuuno gw'oyise, wuuno gw'oyise Mukama omwana wo;
obulamu bw'ensi bwo buweddeko,
beera wa kisa ggwe ng'omulamula
mutuuse gy'oli gy'azze eyo
Ddunda mu bwakabaka bwo.

1

Ggwe nsibuko y'obulamu Katonda waffe,
gy'oli gyetuva era gye tudda
obulamu bw'ensi buyita kapaalo,
nga buweddeko otuwaayo obw'olubeerera.
(Nze kkubo, nze mazima, nze bulamu.)

2

Ggwe Mutonzi w'ebiriwo Katonda waffe
Ggwe atukuumira obulamu bwaffe
ebiseera by'ensi byanguwa okuzaama,
nga biweddeko otuwayo eby'olubeerera.

3

Tukukwasa abatufuddeko Katonda waffe
yamba abantu bo baave mu lumbe
mu bulamu bw'ensi bamanya Omutonzi,
nga buweddeko bawe empeera ey'olubeerera.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.