Lyrics

Y'ani? Y'ani oyo?
Y'ani? Y'ani oyo?
Y'ani? Y'ani oyo
alituggya ku kwagala kwa Kristu, y'ani?
Y'ani? Y'ani? Y'ani? Y'ani, y'ani oyo?

Nnaku ya ngeri ki?
Bwemi bwa ngeri ki?
Njala ya ngeri ki?
Kabenje ka ngeri ki, ka ngeri ki?
Kuyita busa oba kiyigganyizo,
tuwangula ku bw'Oyo eyatwagala.

Anti baalanga nti olunaku lwonna
tuli mu kabenje, tuli mu kabenje ak'okufa.
Tulowoozebwako ng'endiga ez'okuttibwa.
Kyokka nze nkakasa newankubadde (olumbe,)
newankubadde obulamu, newankubadde
Bamalayika yadde (oba) abakungu ba kirimaanyi.
Ebiriwo, ebiriwo ebya waggulu eyo
tebirisobola, tebirisobola kutuggya
ku kwagala kwa Katonda,
kisa kya Katonda, kisa kya Katonda,
ekiri mu Kristu Mukama waffe.

Ffe tumanyi nti abaagala Katonda
byonna bibagendera bulungi.
Abayitibwa Abatuukirivu
byonna bibagendera bulungi.
Kyateesebwa ne kiggwa.
Beyamanya mu masooka okuva edda beyamanya (yabateebeza)
okutwala Omwana we, okutwala Omwana we olukoba,
afuuke bw'atyo omuggulanda;
afuuke bw'atyo omuggulanda mu b'oluganda enkumu.
(Beyateebeza) Ye beyayita beyatukuza beyagulumiza.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.