Lyrics
Yezu nnakwagala dda ne nkumanya
Ggwe Katonda wange gwe njagala!
Wava mu ggulu eyo n’ojja omponya
N’onfuula omwana ow’essanyu.
Patri Kitange yakundaga dda:
Nti ono ye Mwana, mumuwulirenga!
Yoanna Batista n’akwanjula
Nti: Akaliga kaako akaggyawo ebibi! O......!
Ku mbaga y’e Kana weeraga ggwe
N’oyoleka ekitiibwa n’ekisa kyo!
Ku Lwokuna Olutukuvu, Mukama wange,
Weewaayo Ggwe Yezu, ofuuke mmere! O........!
Baakubonyabonya ggwe, wanjagala,
N’onfiirira, Kitange, ku musaalaba.
Ate wazuukira, Yezu, n’omponya,
N’onzigulira nze eggulu eryo.
Buli lunaku, Yezu obeera nange
N’ongabira ebirungi ebyo mu Missa!
Bwe nkufuna Yezu, liba ssanyu
Ate bwe nkufiirwa, ziba nnaku nsa.
Ka nfiirwe emikwano n’amasanyu
Nneesibe ku Yezu eyanjagala!
Ebyensi eno Yezu, tibimatiza:
Eyeemalira ku Ggwe y’amatira: O ....!
Omwoyo gwange, Kristu teguweera:
Okuggyako, Ggwe Yezu, nga gukuzudde O .....!
Nnyamba, nkuweereze Mukama wange;
Lulikya, olundi, ne nkulaba: O .......!
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.