Lyrics

1

Yezu Omwana wa Katonda wuuno,
Azze Kigambo tumwanirize
Atuleetere amawulire amalungi,
Ag'oggumya emitima gyaffe.
Alleluia Alleluia (3)

2

Yezu omugga gwa Katonda tuuka,
Abayonta tuzze tuweweere;
Ye ggwe mwe tuttira buli luyonta,
Abayonta tuzze tuweere.

3

Yezu amazzi ga Katonda yiika.
Ffe abakyafu tuzze tunaabe
Tuyambe otujjeko buli kazambi
Twamule ffena tumyanse.

4

Yezu enkuba ya Katonda tonnya,
Tonnyera obulamu bwaffe;
Meza mu ffe ensigo yo ggwe gye wasimba
Tukubalire obudde bwonna.

5

Yezu omwala gwa Katonda tuuka,
Kulukuta mu bulamu bwaffe;
Tufune obulamu bwo buli kiseera,
Ogobe ekyeya mu ffe ffena.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.