ALI WAGGULU

Ali waggulu eyantonda nnyini buyinza, ali na wano,
Ye nno ali mu ggulu ne mu nsi oyo ow’ekitiibwa gwenziringana.
1.    Bannange katonda yeebale…….ali waggulu
Twesiimye abatonde ffenna…  ali na wano
Tatuvaako emisana n’ekiro……ye nno ali mu ggulu ne mu nsi oyo ow’ekitiibwa gwenziringana.

2.    Ndabira wa omutonzi wange………
Kirimaanyi, omutamanyirwa………
Ndabira wa omulungi, taata………….

3.    Ggwe amyansa okusinga n’enjuba………
Lwaki nno sikulaba nze?………..
Amaaso ganzibule ggwe!

4.    Wanneewa ku lwa mukwano…………
Wampa ensi eno n’ogiyonja………..
Ko n’eggulu eryo n’oliwunda………..
5.    Mbonabona ku lwa kuba ki?………
Sirimuleka anti n’akamu nze……….
Obunaku  musango gwange………..

6.    Tusanyuke tujaguzenga……………
Twagalane basseruganda………
Tatuli wala omuzadde waffe………..

7.    Ffenna abaagalwa tusinze………
Ffe tuvuze eddoboozi wonna,
Amiina! Alleluia!………….

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password