KASOOKA NZAALIBWA

Kasooka nzaalibwa Mukama wange …Ndayidde
Kasooka nzaalibwa…………Mukama wange
Kasooka nzaalibwa Mukama wange Kasooka nzaalibwa…..
Tutti:
Nyweredde kuggwe Mukama omuyambi wange;
Wanyamba, wamkuuma, wandabirira, tonsulurira
Mukama wange ompanirira ndirojja amaanyi go oli wabuyinza osaana kwagala. X2

1.
Men: Abalabe bange abanjogerako obubi nkugambye bannimisa bannekobera nnyini baduula wulira:
Ladies: Ddunda amwambulidde! Tumuwondere tumukwate amwambulidde anamutaasa leeero ava wa?
Men:  Amwambulidde!
Ladies: Ava wa?
Men: Amwambulidde!
Ladies: Ava wa anamutaasa leero ava wa?
Men: Amwambulidde!
Ladies: Ava wa?
Men: Amwambulidde!
Ladies: Ava wa?
Tutti: Anamutaasa anavawa?
Ladies: Ye ggwe;
Men: Ggwe nninda Mukama wange
Ladies: Ye ggwe;
Men: Ggwe nninda Mukama wange
Tutti:
Ggwe kigo ekinywevu, ggwe kiddukiro kyange, ggwe lwazi lwange ndokola, ndokola. Nsika mumikono gy’omubi oyo annyigiriza;
Nzuuno ssebo, nzuuno ssebo baswaale abakatagga x2
Yanguwa okunyamba ng’ompanirira.
Chorus……………………

2.
Jangu abonabona eri nze akulumirwa…                Mukama wange!
Mu Ukaristia mwe mbeera..Katonda wange!
Jangu akabiririddwa eri nze omusaasizi……            Mukama wange!
Mu Ukaristia mwe mbeera..Katonda wange!
Jangu azitowereddwa n’ogggwo omugguggu ggwo…        Mukama wange!
Mu Ukaristia mwe mbeera..Katonda wange!
Akwagala okusiinga awo ggwe omusanga wa…             Mukama wange!
Mu Ukaristia mwe mbeera..Katonda wange!

3.
Tutti:
Ndiyimba, nditenda, ndirobojja obuyinza bw’omukama mwagala,
Nditenda ne nnyumya obutuufu bwo bwokka Mukama busuffu
Wanjigiriza okuva obuto bwange naguno gwaaka
Ndojja ebikuuno byo anti tonjabulira;
Oli wa kisa..

4.
Ayi Katonda ndikugulumiza ku ntongooli ndikuyimbira ku nnanga ssebo omutiibwa! x2
Jirijaganya emimwa bwendiba nkuyimba, ndiba nkutenda x2
N’olulimi lwange bulijjo lunakutenda x2
Abanjagariza obubi obaswaza obambanyabonya nabo baswadde! x2
Ladies: Naye nze ndokola
Men: Ndokola
Ladies: Ndokola
Men: Ndokola ndokola
Ladies: Ndokola

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password