KRISTU GE MAGOBA GE NNOONYA

1.    S&A: Nzijukira ebingi eby’edda ebyo byannema
Nnakwatanga makyamu amakubo nawaba nnyo
B&T: Nnakolanga n’amanyi okulaba nga nnyikira
Nnakwatanga makyamu amakubo nawaba nnyo
S&A: Nnagobereranga ebyo bye nnayita ebingasa
Nnakwatanga makyamu amakubo nawaba nnyo
B&T: Nnagobereranga ebyo bye nnayita ebisanyusa
Nnakwatanga makyamu amakubo nawaba nnyo

2.    S&A: Naye kati olw’okubeera Yezu
ebyo bye nayita amagoba ebinyuma ebigasa
B&T: Nkizudde kwali kufiirwa
S&A: Nkizudde yali nsobi nnyo
B&T: Nkizudde namala biseera
S&A: Byonna ebyo kwali kufiirwa

S&A: Olw’ekyo byonna bwe mbigeranya n’okumanya
Yezu Omukama ekitenkanika.
B&T: Ndaba nga kwali kufiirwa
S&A: Nkizudde yali nsobi nnyo
B&T: Ndaba nga namala biseera        S&A: Byonna ebyo kwali kufiirwa

S&A: Naye olw’okubeera Yezu
B&T: Nnabimala nze mbiyita bisasiro nnabimala
S&A: Byonna olw’okubeera Yezu
B&T: Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabimala
S&A: Biri olw’okubeera Yezu
B&T: Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabivaako
S&A: Byonna olw’okubeera Yezu
B&T: Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabivaako

Tutti: Kristu ge magoba ge nnoonya.
Omukama ge magoba gentereka x2

B&T: Njagala ndabike nga ssirina ku lwange kintukuza: nga ssirina ku lwange kindokola wadde eteeka.
S&A: Wabula okumanya nti okukkiriza oyo kwe kundokola,  nti okwagala oyo kwe kunyamba.
Nti okukkiriza oyo kwe kundokola, nti okwagala oyo kwe kunyamba.

Tutti: Kristu ge magoba ge nnoonya.
Omukama ge magoba gentereka x2

3.    S&A: Njagala mmuyige, njagala mmumanye x3.
Yezu omulungi mmumanye eyannonda

B&T: Nze njagala mmuyige njagala x4

Slow: Njagala mmuyige —— njagala mmumanye x3.
Njagala mmuyige, njagala mmumanye

B&T: Mmanye n’amaanyi agasibuka mu kuzuukira kwe,
ntegeere n’amakulu, ag’okugabana ku musalaba n’ofanaana nga ye.

S&T: Nange nsuubira bwentyo ndizuukira amazima,
Nange nsuubira bwentyo bga ndizuukira mu bafu

Tutti: Sigamba nti ndi mutuufu, sigamba nti ntuukiridde, sigamba nti ndi mulungi, sigamba nti empeera ngifunye, naye nno nsooka busoosi, muli nze ndi mu kunoonya, muli nze nsaba n’amaanyi,
Omukama njagala mutuuke.

S&A: Wabula ndayira era mmalirira
B&T: Wabula ndayira era mmalirira ne nngamba

S&A: Nti eby’edda ebyo
B&T: Nnabivaako nti eby’edda ebyo tebinnuma.
S&A: Ebyo ebyayita
B&T: Nnabimala nti ebyo ebyayita nabibuuka
S&A: Kristu omununuzi
B&T: Yabimalawo oyo eyanganza era talinjuza
S&A: Nze nduubirira bino
B&T: Ebirijja embiro njagala nzituuse nga bw’angamba
S&A: Ye alyoke ampere
B&T: Oyo omutonzi empeera eyo ye gye yanngamba
S&A: Ngifune mu Yezu
B&T: Oyo omununuzi oyo eyanganza era talinjuza.

Tutti: Kristu ge magoba ge nnoonya.
Omukama ge magoba gentereka x2

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *