Lugaba Ddunda Nze Nkwagala by Evelyn Nalumiisa. Arr. Anthony Kambugu

Lugaba Ddunda nze nkwagala

Nkwebaza ebyo by’ompadde

Olw’ebirungi ebyo byompa

Ntodde nkudizze Lugaba

Tobigaana bisiime Taata

Nsonyiye buli omu eyansobezza

N’omutima omumenyefu Taata

Ntusse nze nkidizze

 

  1. Omugati n’eviino bibino, byendeese Taata bisiime

N’omutima ngukuwa Taata, siima ebirabo byange

 

  1. Nze aweereza Taata onsasire, ndi mutene Taata onyambe

Nkimanyi oli waakisa mukama, siima ebirabo byange

 

  1. Bye sirina bingi ow’ekisa, nze nkusaba Taata obimpe

Eneema zo simpe Taata, nyimbe okwagala kwo

 

  1. Olwaaleero nkwewa onnambike, buli kye nnina Taata kitwale

Onkwateko ontuuse gy’oli, gye wategeka ng’ontonda

Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [102.27 KB]

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *