NJA KUYIMBA

Nja kuyimba nga ekisa ky’Omukama,
Nkutendereze nkwebaze ggwe wanonda.
Nnafuuka mwana wo mu nyumba nze gy’oleka ebyekisa,
Mu mwana wo Yezu nze mu maaso go ndi mwana nuganzi,
Mu bwakabaka bwo olwoyo nange bwentyo nnafuuka musika
1.    Ng’oli wakisa nyo Mukama, ddala wamma kyewunyo
Ggwe okuganza nze kyava ku ki?
Ssebala butukirivu ….a…..a……a…….
Mu maaso go ssetenda kubwange nze ani?
Sso ggwe nolonda mbeere mwana wo ate muganzi
Waggya mu kisa kyo Lugaba, ggwe nojja n’onnonya.

2.    Nkwebaza obutasa Mukama leka gw’oganza nyimbe
Nga ndowoza ggwe byonkolera
By’olaga bisukirivu byamannyi
Bikkuuno byo bingi nyo, okulojja tebigwayo.
Anyi abakweyuna obayamba nooba essanyu lyabwe.
N’okubagiza abanaku abo boona nobajjuna.

3.    Ddunda omwagazi ng’otegeka ntereza zo Lugaba
Zonna zibe nga bwolonda
Tozibirwa n’akatono …a…..a…..a…….
Anaakugana yani muyinza teesanga
Tusa byotesa oli wa buyinza ggwe mutonzi
Nkusaba kimu ku nnyweza ompe okukiriza.

4.    Omberedde wa kisa nyo okuva obuto bwange,
Nebwenali sinabawo
Ekisa kyo nekintegekera ekkubo lyange
Mu kyo ggwe mwe wagya ne mbawo.
Ne munsi munno nga namaga
Ongobereza amaaso ag’ekisa,
Natendya ntya? Nalogya ntya? Leero nayimba ntya?

5.    Sso ne bwe nkuyimba sikoma, akulojja bw’atyo era
Omutonzi ggwe taakumale.
Ssebirungi ossukulumye, wekka omu
Kitiibwa kyo kijudde, muyinza ggwe byonna.
Taata osaana ettendo n’omwana wo oyo omu Kigambo

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *