NZE NNYINZA NTYA

Nze nnyinza ntya obuteebaza by’ompadde                                       Mukama wange nsiima X2

1.    Amanyi ge nnina gano …Nsiima nnyo
Obulamu bwe nnina buno…    ”
Ebitone by’ongabulira…    ”
Omukwano gw’ondaze guno…    ,,
Nze nnyinza ntya obuteebaza by’ompadde
Entasiima ebula agikwatirako.

2.    Bwe buziba nentunuulira …Nsiima nnyo
Ekisa kyo n’obuyambi bwo…    ,,
Ne nfukamira okukwebaza…    ,,
Ebirungi by’ongabulira…    ,,
Ne nkowoola ontunnulire…    ,,
Onkuume mu kuwummula…    ,,
Ebintiisa obuwugule…        ,,
Ne nnekwasa obuyambi bwo..    ,,
Nze nnyinza ntya obuteebaza by’ompadde
Entasiima ebula agikwatirako.

3.    Nga bukedde ne ntunuulira.Nsiima nnyo
Ekisa kyo n’obuyambi bwo…    ,,
Ne nfukamira okukusaba…    ,,
Onkuume mu kutegana…    ,,
Ne nkowoola ontunnulire…    ,,
Ne nnekwasa obuyambi bwo..    ,,
Nze nnyinza ntya obuteebaza by’ompadde
Entasiima ebula agikwatirako.

4.    Nsaana nnyimbe obuteebaza…..Nsiima nnyo
Ntendereze nnyo obuyambi bwo…    ,,
Ebirungi byo tebikoma…        ,,
N’obulungi bwo tebukoma…        ,,
N’omukwano gwo tegukoma…        ,,
Olw’ebirungi by’ongabulira…        ,,
Nsaana nnyimbe obuteddiza…    ,,
Nze nnyinza ntya obuteebaza by’ompadde
Entasiima ebula agikwatirako.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password