TE DEUM – GGWE KATONDA

Ggwe Katonda, ggwe Katonda
Tukugulumiza ggwe tukusinza.
Ggwe Mukama tukutendereza.

1.    Ggwe katonda tukugulumiza
Ggwe Omukama tukutendereza
Ggwe Patri ataliko kusooka
Ensi yonna ekutendereza.

2.    Ggwe ggwe batendereza bamalayika bonna
N’eggulu n’amanyi gonna wegafa genkana
Bawokola obutassa ngabakuyimbira.

3.    Mutuukirivu, mutuukirivu
Mukama Katonda ow’obuyinza.
Bijjudde ensi n’eggulu
Obukulu bw’ekitiibwa kyo ekyo.

4.    Ekibinja ky’abatume eky’ekitiibwa
N’abajulizi ab’ettendo bakutendereza
Eggye ly’abajulizi elitemagana enyo
Likutendereza.

5.    Munkulungo y’ensi yonna w’efa ekoma,
Eklezia omutukuvu
Ggwe Patri ow’obukulu obutagereka
Akutendereza.

6.    Wamu n’omwana woo mu omutiibwa
Ggwe wazala yekka oyo
Ne mwoyo mutuukirivu omukubagiza
Akutendereza.

7.    Ekitiibwa ekya Patri n’ekya mwana
N’ekya mwoyo mutuukirivu
Nga bwe kyaliwo oluberyeberye
Nakakano, nabulijjo
Emirembe n’emirembe AMIINA.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *