Leero Tujaguze Ffena, Harm. Anthony Okello

  1. Leero tujaguze ffenna Olw’essanyu olw’ekitiibwa!

Nga tulowooza bannaffe Abazira nga bwe beesiiimye

Ba Uganda abajulizi Basaale baffe mu ddiini.

 

Abajulizi ba Uganda Beesiimye nnyo mu kitiibwa

Batikkiddwa engule za ba Luwangula

Batukulembedde ffenna, Ka tubagobererenga;

Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria, 

Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria.

 

  1. Mukulike mmwe abaziira, Mmwe abagoba entalo ez’amaanyi

Nga musoma olw’empaka, N’okukwata empisa z’eddini.

Mwanywerera ddala mmwenna, Ku katonda gwe mwasenga.

 

  1. Mwalinga mukayali baana, Mu lubiri nga mmwe baganzi

Era nga mukyawomerwa, obulamu nokulya obwami

Ebyo byona mwabigaya, ne musiima okutiibwa.

 

  1. Mukomera mutambiro, mu bulumi obutagambwa

Obuzira bwa kitalo, nga timuta kwegayirira

Ne musambira Uganda, yona esenge Katonda

 

  1. Tufunye muggulu leero, abantu wolereza bangi

Betunalabirangako,  tulyoke tusinge sitaani

Okutuusa lwe tuli fa, ne tugenda ewa Katonda

Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?
Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [37.08 KB]

 

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password