MATIA NE KAROLI W.F Harm: L. J. K. S. Tamusuza
- Matia ne Karoli ne bannamwe abiri;
mwe abafiirira eddini, mwatugulumiza dda. (mu nsi Uganda.) - Ababaka ba Yezu bwe bajja mu nsi muno;
mwabasanyukira nnyo, ne babayigiriza. - Nnyini mikisa gyonna, Katonda y’abeegombya
eddiini ey’amazima; mmwe y’asooka okulonda, - Mmwe abasookera ddala mwawebwa okusoma
eddinni ya Katonda ne mugitutuula. - Mwasenge Yezu Kristu ne muba bakakafu,
eddiini gye mwkwata n’ebasingira byonna, - Empisa ze mwayisa n’obutukuvu nnyini;
byateegeezanga bonna obulungi bwe’eddini. - Sitaani n’akalala ng’alabba bw’asengukwa;
abangi mu Uganda tibaalwa bamugoba. - N’alyoka bayigganya ng’asiikiila abakulu;
babatiise okutttibwa mulekeyo okusoma. - Katonda gwe mwesiga, amanyi g y’abawa;
gegabakkirizisa ne kye mutalabanga.
0 Comments