EKISA KYA KATONDA

1. Ekisa kya Katonda nga tekitendeka
Gwe bwe watonda omuntu edda wabakola bombi.
2. Ababiri bwe bajja mu maaso go bombi
Kakasa okwagalana kwebalina bombi.
3. Tukuza endagaano zebakuba bombi
Babeerenga babiri okuva olwaleero.
4. Adamu ye yasooka n’Eva muganzi we
Wabagatta gwenyinni n’obawa omukisa.
5. Omukwano omulungi gufuka bufumbo
Bwe wassako etteka bwa babiri bokka.
6. basanyukke bulijo mu bufumbo bwabwe
Bakubagizibwe nnyo nga bafuna abaana.
7. Yozefu ne Maria tubabakwasiza
Mubasabe bulijo mu nnaku n’essanyu
8. Katusabe Katonda mubeere balamu
Mwagalane bulijo okutuusa  okufa

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password