Obufumbo Obutuufu
Obufumbo obutuutufu
Katonda yabuleeta;
Anti buba bw’omu n’omu
Ne butagatuululwa
Ayi Yozefu, tukutenda.
Kuba ggwe bba Maria
Abaana bo abafumbo
Obateereko omwoyo
Obufumbo obutuufu
Bwokka bwe busiimibwa
Omukama yabukuza
Ne buba Ssakramentu.
Omukisa gwa Katonda
Gubeere ku bafumbo
Baagalane mu mazima
Nga babeeragana nnyo
Abafumbo abeesigwa
Nga beewayo bulala
Okukuza abaana baabwe
Yozefu obayambe
Yozefu ggwe bba Maria
Wolereza abafumbo
Obajune ng’obakuuma
Bayambenga bulijjo