TUNULIRA ABAGOLE

1. Tunulira abagatiddwa bwebawomye
Balinga ba Malayika eri mu ggulu
kati bafumbo mu maaka amatufu
Ffena tubakubireko mu ngalo

Bayingidde mu bulamu obw’ekitiibwa
Mukama bwakakasiza olwalero
Era ne bwekiriba ki balayidde
Okunywerera ddala wamu nga babiri.

2. Laba bwebetunulako bwe bamwenya
Nga bagenda mu bulamu obupya
Mwoyo ababunduguleko ebitone
Babenga ettala mu maka amatukuvu.

3. Tunulira bwe bakumba bwe basaaliza
Muli nga beyagala nnyo ‘Lwe luno’
Buli omu akakasa munnenti nkututte
Okutusa ddala okufa ndi naawe.

4. Katwoleke ababadewo bwe tusimye
Ekikolwa kye mukoze nga weetuli
Mu bizibu ebirigwawo tubayambe
Obufumbo bwammwe buno bubanguyire.

5. Katusabe nyini byonna abakuume
Abayambe okussanga ekimu mu byonna
Muwangaale, mukungule ebirungi
Okutuusa lwalisalawo okubayita.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *