Lyrics

Chorus

Tukuwa Mukama biibyo ebitone, Yezu yennyini by’akuwa
Tuleeta evviini evudde mu nsi eno n’omugaati biibino.
Tusaba Kitaffe n’essanyu obisiime, saasira abatonde
bonna.

1

Namugereka Katonda w’ensi, ow’obuyinza ataggwaawo.
Tukusinza nga twetowaza mu maaso go kaakati.
Ffekka tetusaana kujja mu maaso go,
Naye tunuulira Yezu ono Omwana wo, otusaasire

2

Namugereka Omutonzi w’ensi, ow’ekitiibwa ekyasukka
Tukutenda ossukkulumye ku ntebe yo entukuvu.
Byonna waggulu eyo n’ebyo ku nsi kuno, byonna wabikola
Anti n’amaanyi go, byonna bikwekola

3

Tuli baana bo Katonda w’ensi, oli Kitaffe ggwe twesiga
Totusuula ffe abaajeema, ffe abeenenya kaakati
Kitaffe ow’ettendo, jangu otuyambeko,
Leero tunuulira Yezu ono Omwana wo, otusaasire
‘’

Chorus

‘’ ‘’
‘’

Chorus

‘’
‘’ ‘’
Descant:
Ffe tukuwa ebitone yennyini by’akuwa
Evviini mu nsi eno n’omugaati biibino,
Biibino Kitaffe bisiime batonde bonna

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.