Lyrics

Chorus

Munaayitibwanga basaserdooti,
luse lulondobe,
eggwanga lya Katonda,
abantu ba Katonda ab'obwebange.
Ab'obwebange, ab'obwebange,
ab'obwebange bantu ba Katonda ab'obwebange.
Mwagattibwa ne Kristu omusosoroti,
ne musiigibwa nt Chrisma n'abajjula,
Mwoyo wa Katonda n'abatukuza;
muli basosorooti ggwanga nnamukisa ery'abalondemu.

1

Katonda yagamba nti ggwe oli mwana wange,
Kristu olwaleero nkuzadde,
ndibeera Kitawe n'aba mwana wange,
oli kabona ow'olubeerera.
Ennyumba ye be [baffe?], tuli baana.
Kasita tusigala nga tunywedde mu ssuubi lino erisanyusa.

2

Omulimo gw'omusosoroti kwe kuweereza ebirabo,
n'ebitambiro ewa Katonda.
Ebitambiro ebyokye tebyakusanyusa ggwe Kitange.
Nzuuno nzize, nzuuno nzize okukola ky'oyagala,
nzuuno nzize nze Kristu omwana wo.
Ennyumba ye be [baffe?], tuli baana.
Kasita tusigala nga tunywedde mu ssuubi lino erisanyusa.

3

Kati Kabona omukulu ow'okuleeta ebiggya yatuuka dda.
Yayingira lumu mu kitukuvu ku lwa bonna.
Omusaayi gwe yatambira gwe gugwe ddala,
Omusaayi gwe Kristu gwe yatambira,
n'atufunira enunuza ey'olubeerera.
Ebitundu bye be [baffe?], tuli baana;
kasita tusigala nga tunywedde mu ssuubi lino erisanyusa.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.