Lyrics

Chorus

Saasira
Ayi Mukama Ggw'omusaasizi,
Ggw'omusaasizi Mukama omusaasizi,
ayi Mukama Ggw'omusaasizi saasira.
Ggw'omusaasizi, Ggw'omusaasizi Kristu omusaasizi saasira.

Chorus

Ekitiibwa
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.

1

N'emirembe ku nsi ku bantu b'ayagadde atyo.

Chorus

Yonna mu ggulu ne mu nsi ffe tukutenda
tukugulumiza ggwe Katonda waffe.

2

Ffe tukutenda tukugulumiza tukusinza, tukusaamu ekitiibwa,
wakola bya kitiibwa nnyo webale.

3

Ayi Mukama ggwe Katonda, Kabaka w'omu ggulu Katonda Patri,
omuyinza wa buli kantu.

4

Ayi Mukama ggwe omwana azaalibwa omu yekka, Yezu Kristu.

5

Ayi Mukama ggwe Katonda, Akaliga ggwe aka Katonda, Omwana wa Patri.

6

Ggwe aggyawo ebibi by'ensi, tusaasire,
ggwe aggyawo ebibi by'ensi wulira okwegayirira kwaffe.

7

Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Patri,
ggwe atudde ku gwa ddyo tusaasire.

8

Kubanga ggwe mutuukirivu wekka, ggwe Mukama wekka
Ggwe osukiridde wekka Yezu Kristu.

9

Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu, mu kitiibwa kya Katonda Patri
Amiina Amiina.

Chorus

Mutuukirivu
Mutuukirivu nnyo Mukama Katonda w'amaggye mutuukirivu nnyo,
Mukama Katonda w'amaggye mutuukirivu.
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n'ensi.
Hosanna waggulu eyo, hosanna waggulu eyo.
Oyo ajja mu linnya ly'Omukama atenderezebwe
Hosanna waggulu eyo.

Chorus

Kaliga ka Katonda
Kaliga ka Katonda, Kaliga ka Katonda
Ggwe Kaliga ka Katonda, gwe aggyawo ebibi bye nsi tusaasire;
Ffe tusaasire, (Kaliga ka Katonda) ffe tusaasire,
(ggwe aggyawo ebibi by'ensi)
Kaliga ka Katonda, (ffe tusaasire)
Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire.
Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tuwe emirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.