Lyrics
Gwentendereza Mukama Katonda wange.
Oli mukulu nnyo, oli wa kitiibwa.
Tosirika busirisi ng'abalabe bannumba.
Tosirika busirisi ng'abampalana,
ababi abalimba banjogerako eby'obukyayi
bannumba, bannumba, bannumbira ki?
Yadde mbaagala, bannumbira ki, nga nze mbaagala?
Nze kye nkola kwe kubasabira.
Yita abakungu bonna, (mu Israeli,)
yita abantu bonna (wendi ku lusozi)
e Carmelo bajje, (nze mbasisinkane,)
n'abalaguzi babwe (bikumi bina,)
musalewo ekituufu muve mu kulimbwa.
Munakoma wa? Munakoma wa?
Munakoma wa okulinnya mu bibiri? Munakomawa?
Oba Katonda ye Mukama, mumusinze.
Oba Baali ye Katonda wammwe, gwe muba musinza.
Tebaddamu, tebaddamu kigambo.
Tebaddamu, tebaddamu kigambo;
ne basirika busirisi.
Eliya kwe kukambuwala n'abagamba bonna:
Nze mulanzi nzekka, (asigaddewo.)
Nze mulanzi nzekka (asigaddewo.)
Nze mulanzi w'Omukama (asigaddewo.)
Nze mulanzi nzekka (asigaddewo)
naye abalaguzi ba Baali, bangi bulala nnyo.
Bali bameka? Bina mu ataano.
Bina, bina, bina, bina mu ataano.
Mutuwe ente bbiri, tuziteeke ku nku,
temukooleeza muliro,
lubaale anaguleeta ne gubyokya byonna
ng'oyo ye Katonda.
Tukikkiriza.
Ky'ogambye wamma kye kisinga.
Kirungi nnyo, kirungi nnyo tumanye ekituufu,
basajja batulimba nnyo.
Mutandike, anti muli bangi.
Mutandike, mulandeko yonna gye mwagala,
mukowoole Katonda wammwe.
Ne batandika n'eddoboozi ery'amaanyi okulagulwa.
"Ayi, ayi, ayi Baali tuwulire,
ggwe lubaale w'omuliro, situka kati ojje.
Oluwa? Oluwa? Oluwa lubaale waffe?
Twanukule."
Mukowoole nnyo, mukowoole nnyo, lubaale yeebase,
mpozzi akyelowooza,
mpozzi akyetereeza,
mpozzi akyaddeko.
Yandiba nga yeebase.
Mumuzuukuse aveeyo, mumuzuukuse ajje.
Mumuzuukuse, mumuzuukuse ajje,
naye tewali kanuyego.
Eliya n'ayita abantu basembere waali,
n'azimba buggya altari ku mayinja kkumi n'abiri,
n'asima olusalosalo n'agamba abaliwo mujjuze,
mujjuze ensuwa nnya ez'amazzi,
mugafuke kuno ku ngulu okw'ekitambiro,
kibisiwale emirundi esatu ne gakulukuta.
Eliya n'asembera ne yegayirira bw'atyi:
Ayi Katonda wa Israeli, wa Ibrahimu, Izaake ne Yakobo,
leero kimanyike, leero kimanyike,
nti Ggwe Katonda mu Israeli;
nti Ggwe Katonda ddala, nze muweereza wo.
Bino bye nkoze Ggwe ondagidde okubikola.
Nyanukula Mukama wange, nyanukula,
abantu bo balyoke bamanye nti Ggwe Katonda wabwe,
Ggwe Mukama wabwe akyusizza emitima gyabwe okugizza gy'ali.
Awo Katonda n'asindika omuliro omuyitirivu,
ne gwokya byonna,
ekitambiro, nku n'amayinja, n'amazzi ne gakalira,
bonna ne balekaana:
Ddala Mukama ye Katonda, ddala Mukama ye Katonda,
ye Katonda yekka,
Mukama Katonda, asaanira kutendwa wama wa kitiibwa,
asaanira kutendwa wamma wa buyinza,
by'akola bisuffu nnyo,
asaanira kutenda, asaanira kutendwa
emirembe gyonna,
gyonna, gyonna, gyonna.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.