Lyrics

Nze Rafaeli, nze Rafaeli, nze omukubamalayika omusanvu abayimirira
obutengerera mu maaso ga Katonda. Muwulire nze bye njogera kati nno
mugulumize Omukama, ku nsi eno mwebaze Katonda omu. Mujjukire by'akola, kati
nno mwebaze Katonda omu. Mmwe mubinyumye by'akola, kati nno mwebaze Katonda omu.
Mwatuukirize, mwatuukirize amatendo g'Omukama by'akola bisuffu. Mwatuukirize, mwatuukirize
ebikuuno bye mu maaso g'abatonde abalamu bonna bamanye ebirungi,
bamanye ebirungi ebyo by'atukoledde. Mugulumize mmwe erinnya lye, mugulumize mmwe erinnya
lye muliwe ekitiibwa, muliwe ekitiibwa, muliwe ekitiibwa ekyo eky'olubeerera.
mubamanyise mubamanyise ebikuuno bye
abantu bonna ddala babimanye bonna
babimanye wonna, babimanye wonna nga bwekisaanidde, birungi nga bwekisaanidde
bituufu nga bwekisaanidde. Temukoowa n'akamu mmwe okumwebazanga. Mukuume
ekyama, mukuume ekyama, mukuume ekyama kya kabaka Katonda wammwe
kya magero, kya magero kya ttendo ddala, ddala o
ye okukyatula, naye okukyatula, naye okukyatula
kugulumiza Omukama by'akola, n'okumwebaza nga bwekisaanye. Ka nnyimbe amatendo
ge mu nsi eno eyakachwano. Ka nnyimbe amatendo ge.
Mukama mulungi.
Twebaze ekisa kye.
By'akolabirungi.
Mugulumiza, mugulumiza ntakera, mugulumiza. Buli budde bwonna, mugulumiza.
Buli ssaawa yonna, mugulumiza.
Olunaku lwonna, mugulumiza.
Mugulumiza ntakera olw'ebirungi by'akola mumwebaze, mumwebaze, mu
mwebaze asaanira ddala mumwebaze
mumwebaze, mumwebaze,
asaanira ddala Mukole bulungi mpawo kabi konna
amatendo gonna.
buli budde bwonna.
tumutende ffenna.
atukuumye ffenna.
kalibajjira. Muyise bulungi, mpawo kabi konna kalibajjira.
Essaala erimu okusiiba n'okutoola, ekira wala. Obugagga ng'oli mu bubi.
okutoola ku bibyo n'owa abalala kikira ddala okutuuma zaabu omungi. Okutoola
n'ogaba kuwonya okufa. Okutoola n'ogaba kuwonya ebibi, kukuwa okuwangaala
n'owona okufa amangu. Kyokka abonoona ne bayisa obubi, besombera bokka ennaku enzibu.
Leka mbajjukize, leka mbaggulire ekyama eky'amazima. Nze nabagambyedda
nti okukuuma ekyama kya Katonda wewaawo kirungi, kyokka okwatula Katonda by'akola, kya ttendo ddala ddala.
Mwebaze Katonda nga bwekisaanira, emirembe gyonna mumuyimbire
ekirungi kyonna mpawo kabi konna essaala egenderako
kye muba mukola, kalibajjira mmwe,
okusiiba n'okutona esinga wala, obugagga obw'obubi okutoola ku bibyo
n'ogabako ky'osobola kikira wala okutuuma zaabu. okufa amangukuwonya
okufa
agaba awangaala emyaka mingi, ayonoona ku nsi yesombera nnaku nsa.
Bwe wegayiriranga Sara nze nnayanjulanga essaala zo ewa Katonda waffe, Tobi bwe waziikanga
abafumu bwangu, nze nnatumibwa nkugeze ng'oziba amaaso. Ddunda antumye nkuwonye
ggwe ne Sara, mukomwna. Nze Rafaeli, nze Rafaeli Ssabamalayika. Nze Rafaeli
omu ku musanvu abayimirira mu maaso g'Omukama emisana n'ekiro. Ngenze nsitudde
Mugulumize Omukama, ngenze nsitudde. Ngenze nsitudde, mugulumize Ddunda
ngenze nsitudde. Mwebaze Katonda, asaana kwebaza wonna, mwebaze Katonda
ayi mmwe ensi zonna. Mwebaze Katonda, mwebaze Katonda emirembe gyonna, gyonna, gyonna, gyonna.
Nzikiriza nnyo by'ogamba, ebigambo byo anti ge mazima;
njagala mbituuse ayi Mukama, ng'onnyambye nja kuwangula.
Kitaffe omuyinza mukkiriza n'Omwana we omu gwazaala
ekitangaala ekyava mu Ye ng'emirembe gyonna teginnabalwa.
Yazaalibwa buzaalibwa teyakolebwa, Ye Katonda Mwana
eyakkirira ng'ava mu ggulu eyo atulokole; mubiri yagufuna
mu Mariya omubeererevu. Nafuuka omuntu.
Yakomererwa oyo olw'okuba ffe, ku musalaba
nabonabona ku mirembe gya Pilato n'aziikibwa;
n'azuukira ku lw'essatu nga bwe kalangwa.
Eyalinnya mu ggulu, atudde kugwa ddyo ogwa Kitaffe; alijja
okulamula abalamu n'abafu. Obwakabaka bwe tebuliggwawo.
Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu Katonda
asibuka mu Kitaffe ne Mwana. Mugulumiza kimu
n'abo awamu. Ye yayogera ne mu balanzi.
Nzikiriza Kleziya omu, omutukuvu Katoli
mukkiriza mukkirika
owas Batume. Nzikiriza Batisimu emu
za wa Batume mukkiriza
esonyiwa ebibi byaffe, ate ninda okuzuukira kw'abafu;
n'obulamu obw'emirembe egirijja, Amiina.
Amiina.
Nze nzikiriza Katonda omu eyatutonda, n'atuwa obulamu; Patri
Nzikiriza omu eyatutonda n'awa obulamu;
omuyinza wa buli kantu. Nzikiriza Katonda omu nze mukkiriza.
Eyakola eggulu n'ensi, ebirabika n'ebitalabika;
nzikiriza n'Omukama omu, Yezu Kristu Omwana omu ati owa Katonda,
Patri gw'azaala nga n'emirembe gyonna teginabaawo.
Katonda ava mu Katonda, ekitangaala mu kitangaala,
Katonda ddala ava mu Katonda ddala.
Yazaalibwa buzaalibwa teyatondebwa, Ye ne Patri
mu bwa Katonda be bamu ddala, byonna mwe byakolebwa.
Oyo olw'okubeera ffe abantu y'ava mu ggulu n'akka atulokole; n'afuna omubiri mu
Maria omubeererevu, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n'afuuka omuntu.
Era olw'okubeera ffe abantu, yakomererwa ne ku musaalaba,
n'abonaabona, ku mirembe gya Ponsiyo Pilato n'afa n'aziikibwa!
N'azuukira ku lw'essatu nga bwe kyali mu biwandiiko.
N'alinnya mu ggulu atudde kugwa ddyo ogwa Patri, alidda ogwokubiri
n'ekitiibwa okulamula abalamu n'abafu, obwakabaka bwe tebuligwawo.
Nzikiriza ne Mwoyo Mutuukirivu Omukama era awa obulamu ava mu Patri ne Mwana,
gwe tusinza awamu ne Patri ne Mwana, ne tumugulumiza kimu yeyayogerera mu balanzi.
Nzikiriza n'Eklezia omu, Omutukuvu Katolika eyava mu batume, njatula Batisimu emu e
sonyiwa ebibi; nindirira okuzuukira kw'abafu, n'obulamu obw'emirembe egirijja
Amiina, Amiina Amiina Amiina.
Amiina, Amiina.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.

Pieces in this work

Each piece has its own page with just its pages of the score.

  1. Nzikiriza
  2. Nzikiriza (2)