Lyrics
Betelemu, Betelemu
ggwe nnamukisa.
(Yezu azaalidde eyo.)
Ssanyu lissusse, ssanyu lissusse,
Omununuzi atuuse.
Bannange abasumba mujje,
anti mbayita obw'edda,
tugende Betelemu.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Azaalidde kigambo kya ssanyu,
ffenna Alleluia mu nsi,
ne mu ggulu nga ky'ekyo.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Ye wuuyo Katonda y'azze,
afuga ensi alamula eby'eggulu,
Ye wuuyo Omusumba y'azze.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Ye wuuyo eyalangwa y'azze,
Kabaka ono omufuzi ow'ekisa,
Ye wuuyo omusuubize azze.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Yeebase awo mu kabanvu,
bambi empewo emufuuwa,
anti awo awasula ente.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Mariya ne Yosefu abange,
mbalaba mufa ekitiibwa,
wuuno kabiite wammwe.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Mmwe abagalwa muyimbe
anti essanyu lissusse,
Y'ono omununuzi azze.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Ye ono Kigambo y'azze,
Mukama olwa leero azze ku nsi,
eggulu muyimbe.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Olwa leero kigambo kya ssanyu,
Mukama olwaleero azze ku nsi,
mmwe nsi kati muyimbe.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Alleluia mu ggulu,
Alleluia mu nsi,
Alleluia mwenna.
(Tugende Betelemu tulabe Yezu oyo azaalidde.)
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.