Lyrics
Omuto ddala, (azaaliddwa)
omuto ekibombo azaaliddwa.
Katumwebaze, tumukulise,
Mukube engoma, zivuge kati.
Onomusanga wa kunsi akwagala okuzaama okukira ono Yezu.
Atuuse omulindwa wa bonna mulaabye nze Yezu.
Atuuse omulindwa wa bonna mulaabye nze Yezu.
Nze mbuuza abatonde b'okunsi mundage nze Yezu.
Aluwa? (Aluwa?) Aluwa Kabaka wange nze
gwenziringana kati aluwa?
Aluwa? Aluwa? Aluwa?
gwenziringana kati oluwa?
Mbuuza basajja bannange Yezu aluwa?
(Simanyi, tomanyi, simanyi, tomanyi.)
Mbuuza abauzi b'ensi eno Yezu aluwa?
(Simanyi, tomanyi? simanyi, tomanyi? simanyi.)
Mbuuza abawala ba Sioni Yezu aluwa?
Aluwa? Aluwa Kabaka wange nze
gwenziringana kati aluwa?
Aluwa? Aluwa? Aluwa?
gwenziringana kati oluwa?
Mulimba, musaaga, Yezu aluwa?
Mpozzi mugendeko'e Betelemu gye muba munoonya.
Kye munaggyayo munaatubuuliraa naffe, kye munaggyayo.
Mugire tugende tunaasisinkana olulala, mugire tugende.
Nze mbuuza Maria gw'azadde, Yozeu amukuuma
Abaffe tuswadde lw'atuuse okubulwa amulinda
Leero nze essanyu ku lw'atuuse mundabe nze mbiibya
Aluwa? (Aluwa?) Aluwa Kabaka wange nze
gwenziringana kati aluwa?
Aluwa? Aluwa? Aluwa?
gwenziringana kati oluwa?
a. Omuleesi ow'eddembe, kati ali wa?
b. Tumusinze twebaze, kati aliwa?
c. Mu kibanvu yeebase;
d. Ye Kabaka ow'abantu;
e. Ye Messiya ow'ekisa.
a. Yezu tukwaniriza, Yezu tukukkiriza, Yezu omulangira azze.
b. Yezu omuganzi kunsi, Yezu otwagalaa nnyo, Yezu nnakwebaza ntya.
c. Yezu okufuuka omuntu, Kristu otufaananye nnyo, naffe tufuuse baggya.
d. Naffe tukwagala nnyo, Yezu Katonda lw'ozze, leeta emirembe kunsi.
Ggwe omulokozi, Ggwe omulindibwa,
fe tukwanirizza, ffe tukukkirizza.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.