Lyrics
Eddungu, eddungu lisanyuke, lisanyuke ekkalu,
eddungu eddungu lisanyuke, lisanyuke nnyo.
Ke lisanyuke, lisanyuke n'ensi enkalu,
bisanyuke, bisanyuke, bisanyuke, bisanyuke.
Olukoola ka lujaganye, ka lutojjere (lutojjere),
lujaguze, (lutojjere) lujaguze.
Lwanye ng'ekimyuula, lwanye ng'ekimyuula.
Ka lujaguze ka lukube embuutu n'oluyimba nga lutaddemu.
Mugume, mugume, mugume Katonda wammwe atuuse.
Mugume, mugume, mugume Katonda wammwe atuuse.
Atuuse atuuse atuuse ye Katonda wammwe atuuse.
Atuuse atuuse atuuse mmwe mumulabe wuuno ajja,
muleke kutya wuuno ajja.
Mulabe, mulabe omulangira atuuse.
Mulabe omulangira avaayo nnantameggwa.
Okuwoolera eggwanga kuukuno kutuuse,
okugabula empeera kuukuno kutuuse; azze,
azze okutuwonya atuuse sibalimba.
Baliraba ekityibwa ky'Omukama n'obukulu bwe;
mikono emitiitiizi girinywezebwa,
mugume mmwe muleke kutya, mugume mmwe muleke kutya.
Amaaso ga bamuzibe galiraba, amaaso ga bamuzibe galiraba.
Olw'omulema alyebuukiza ng'ennaangaazi,
olw'omulema alyebuukiza ng'akaliga.
Olwo kasiru aliyimba n'okujaguza,
olwo kasiru aliyimba n'essanyu ezzibu.
Kubanga b'anunudde balikomawo, balikomawo nga bayimba,
n'abasibe balikomawo, balikomawo nga bayimba,
n'ekityibwa kirikomawo, kirikomawo mu Sioni,
nga bayimba nga bazina nga bajaganya.
Essanyu eritaggwawo libali ku maaso,
balikomawo nga bazina nga bayimba nga basanyuka.
Ennaku ziwedde, ebiwoobe biwedde;
ennaku ziwedde, ebiwoobe biwedde.
Katusaanyuke, ka tujaganye,
tusagambize ffe Omulokozi atuuse Katonda muzirakisa.
Muzirakisa Katonda wange oyo, muzirakisa,
muzirakisa Katonda wange oyo muzirakisa.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.