Essaala Ya Isaaya

Composer:

Lyrics

Mukama waffe, Mukama waffe,
Ggwe Kitaffe okuva ddi na ddi,
Ggwe Mukama waffe okuva ddi na ddi.
Erinnya lyo Mukama waffe,
Ggwe Mununuzi atasingika, kituufu,
Ggwe Mununuzi, Ggwe Mununuzi atasingika.
Lwaki otuleka Mukama waffe,
lwaki otuleka okuwaba mu makubo go ggwe?
Lwaki otuleka okuwaba ne tuva mu makubo go;
n'okakanyaza emitima gyaffe, ne tutakutya.
Saasira abawereza bo ayi Mukama,
saasira ekibiina kyo tukuwanjagidde.
Oh! Singa oyabya eggulu eryo n'okka.

Ensozi nkugambye zonna zo ziseetedde,
ng'omuliro ogukutte ebisaka,
ng'omuliro ogufumba amazzi ne geesera.
Abalabe bo bakutegeere (nti ye Ggwe),
abalabe bo bakutegeere (nti ye Ggwe),
amawanga gonna gakankane, gakankane mu maaso go wano,
nga gatunuulira bino ebyewunyisa enkumu,
ebitabangawo, ebitawulirwanga,
tebiwulirwanga, tebiwulirwanga muntu n'omu,
bonna tebawuliranga (obw'edda abantu),
n'eriiso terirabanga Katonda mulala akolera abantu bw'atyo.
Abasuubira mu linnya lye.
Teri, teri Katonda mulala yenna.
Te yenna akufaanana alambika
(abatalina na [ntonyeze?]),
akuuma mu mitima gyabwe amakubo go.

Wasunguwala, wasunguwala nga tukoze bubi.
Twalwawo ffe nga tukujeemedde,
nga tuwotose ng'ebikoola,
nga tewali n'omu akukoowoola,
anti watukisa ggwe amaaso go,
n'otuleka tuzikirire mu bibi byaffe.
Naye kaakano Mukama waffe,
Ggwe Kitaffe tukugondera,
tuli bbumba, tuli bbumba, ggwe mubumbi waffe ffenna.
Ffe mulimo gw'omukono gwo.
Ggwe mutonzi w'ebitonde byonna.
Ayi, ayi atuula ku Bakerubiini,
tangalijja, tangalijja, tangalijja,
kakamula obuyinza bwo, ojje otulokole.

Katonda w'amaggye komawo,
yima mu ggulu otunule eno.
Tunuulira Ssebo, tulambike Ssebo
omuzabbibu ggwe gwe wasimba,
gutaase Taata, gunyweze Taata
n'akalokwa ggwe wennyini ke wasimba.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.