Lyrics

Chorus

Ka tulamage ffenna ab'oluganda ffenna b'olyoye
katulamage abazira.
Tudda ewa Kitaffe, ka tulamage ffenna,
ffenna ab'oluganda, ka tulamage ffenna.
Yezu an'atuutuusa mu Yeruzalemu omuggya,
ffenna tuli mu lugendo, tutambule.
Tutambuza maanyi na buyinza, tutambuza masajja tuli n'oyo
eyawangula sitaani n'amumegga, eyawangula olumbe nnamuzisa
naffe n'atukakasa nti anzikiriza ndimuzukiza.
Nze kkubo nze mazima nze bulamu.
Kristu ffe nno b'oyise tutuuse gy'obeera.
Kristu ffe nno abakulindirira tutuuse mu kitiibwa kyo eky'olubeerera.

1

Obulamu bw'ensi buyita kapaalo, bulinga omuddo ogwo ku ttale.
kyokka bwa muwendo, mu bwo mwe tukolera ebirungi Katonda kw'ayima
n'atuwa empeera anti y'asuubiza nti:
buli ampeereza Kitange alimuwa ekitiibwa,
nange wentudde naye w'alituula.

2

Obulamu bw'ensi butudyekadyeka, bulinga roza ey'oku ttale.
kyokka bwa muwendo, mu bwo mwe tufunira obugagga Katonda kw'ayima
n'atussukulumya nga bwe y'asuubiza nti:

3

Obulungi bw'ensi butulimbalimba, bulinga mmambya lw'anaasala.
kyokka bwa muwendo, mu bwo mwe tulabira ebirungi Omutonzi w'eggulu
by'atuwa abantu nga bwe y'asuubiza nti:

4

Obugagga bw'ensi butusendasenda, bulinga omuddo ogwo ku ttale.
kyokka tumanye nti mu bwo mwe tuyigira okutoola kuyamba abalumwa
n'oddiza Katonda nga bwe y'asuubiza nti:

5

Obulumi bw'ensi nga butukuza nnyo, tubanga zaabu bw'ayokebwa.
nabwo muwendo, mu bwo mwe tufunira ebirungi Katonda kw'ayima
n'atuwa empeera nga bwe y'asuubiza nti:

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.