Lyrics
Kibbiitu, kibbiitu mbabuulire kibbiitu;
kibbiitu mbabuulire'e Betelemu.
Mu ttumbi ddala ddala wakati eyo (kibbiitu)
Mu nzikiza ddala ddala ng'ekutte
Ng'ekutte etesaasira ali wabi
Nga zogera engombe okukamala,
Ez'eggye erya bali abatukuvu,
Be baabo abavuza engombe.
Ye wuuyo eyalangibwa ab'edda.
Ye wuuyo eyayeyebwanga olutata.
Ye wuuyo eyasunibwa ku nnanga.
Ava wa Omulokozi atuuse?
Ajja atya omulindibwa oyo ewaffe?
Ava wa omulindibwa oyo atuuse?
Mariya webale okuzaala (mazuuku, gano mazuuku, omwana wa bulenzi mazuuku.)
Ozadde Katonda Yezu (mazuuku)
Ofuuse omuzadde wa Ddunda (kikuuno)
Ofuuse omuganzi wa Taata (Katonda)
Ofuuse Namasole nnyaffe (atyibwa)
Yozefu webale kuwonga (ddala nnyo)
Ggwe ofuuse amakula ga Ddunda (nkutenda)
Tweyanze Katonda Mwana (otuuse)
Ensi yonna yonna mujje tuyimbire omukama.
Yee! Ekitiibwa mu ggulu, ekitiibwa mu ggulu
n'emirembe ku nsi, n'emirembe ku nsi
ku bantu b'ayagadde atyo.
Bamalayika bazze wulira bayimba
Abatuufu balonze ku luno bayimba
Ffe amawanga gazzemu wulira tugamba
Ekitiibwa kyaleese ku nsi tekitendwa
Ffe abajeemu tubuddwa kakano tugamba
Twebaze, tuyimbe nnyo olwa kristu azze
Mujje tutukeyo abange (Abalinda, Kristu abalinda.)
Ensi tuyimuke abange
Mujje tumweyune atuuse
Azze tusanyuke abange
Ffenna tugendeyo atuuse
Ffenna ka tweyale abange
Ffenna ka tuwere abange
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.