Lyrics

1a. Leero tunakutenda, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Ye Ggwe Katonda mweene, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
b. Tukwagala nnyo Mukama waffe, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Tukwesiga nnyo Mukama waffe, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
c. Tunaalitenda erinnya lyo, buli olukedde erinnya lyo,
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga olw'ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda, tunaakutenda.

2a. Amawanga gonna ganaakutenda, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Amazadde gonna ganaakuyimba, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
b. Tukwekola nnyo Mukama waffe, yee, Ddunda,
Kagingo oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Tukwesiga nnyo Mukama waffe, yee, Ddunda,
Kagingo oli wa kitiibwa tunaakutenda.
c. Tunaalitenda erinnya lyo, buli olukedde erinnya lyo,
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga olw'ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda, tunaakutenda.

3a. Mujje ffe banunudde, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Mujje abalondemu be, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
b. Tukwagala nnyo atatusuula, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Tukwagala nnyo atatudaaza, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
c. Tunaalitenda erinnya lyo, buli olukedde erinnya lyo,
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga olw'ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda, tunaakutenda.

4a. Ebitonde byonna binaakutenda, yee, Ddunda,
Mutonzi oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Buli ludda lwonna lunaakutenda, yee, Ddunda,
Mutonzi oli wa kitiibwa tunaakutenda.
b. Birya butaala ne byegazaanya, yee, Ddunda,
Mutonzi oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Bikwekola nnyo gwe atabisuula, yee, Ddunda,
Mutonzi oli wa kitiibwa tunaakutenda.
c. Tunaalitenda erinnya lyo, buli olukedde erinnya lyo,
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga olw'ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda, tunaakutenda.

5a. Ggwe Kitaffe yonna tunaakutenda, yee, Ddunda,
Kagingo oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Tumutende ffenna Katonda Mwana, yee, Ddunda,
Osaana oli wa kitiibwa tunaakutenda.
b. Tukwegala nnyo Mwoyo atu yamba, yee, Ddunda,
Osaana oli wa kitiibwa tunaakutenda.
Tukwesiga nnyo Nnabaasatwe Ggwe, yee, Ddunda,
Katonda oli wa kitiibwa tunaakutenda.
c. Tunaalitenda erinnya lyo, buli olukedde erinnya lyo,
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga olw'ekitiibwa kyo Ddunda,
buli lunaku tunaakutenda, tunaakutenda.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.