Lyrics
Bass or Tenor Solo
Leka abantu bange bagende Faraawo, leka abantu bange bagende.
Leka abantu bange bagende Farawo, leka abantu bange bagende.
Leka bagende, leka bagende. Leka bagende, bw'onogaana kanakujjuutuka.
Nkowoola, nkowoola omuyinza wa byonna, aluwa Mukama wange
gwenziringana eyankolera ebikuuno ku nsi, gwempitayita aluwa? Aluwa
Mukama wange aluwa? nge omuzirakisa aluwa
Jjangu, jjangu vva mu ggulu ojje otulokole. Jjangu, jjangu vva mu ggulu
ojje, laba abalabe baffe baatudaaza, batwetolodde batukavvule, baswadde.
Totwabuliranga wetema okuba naffe, totwabuliranga atwagala okuzaama.
Katonda waffe, Katonda waffe o
totwabuliranga. totwabuliranga
waffe omuwanguzi ow'amaanyi, tuyambe omuwanguzi asiimwa. Tukwesunga,
tukwekutte to
omuwanguzi ow'amaanyi, omuwanguzi asiimwa
meggwa, tofeenya. Tumbiira waggulu ddala Mukama waffe, tumbiira
waggulu ddala, waggulu ddala; tumbiira waggulu ddala
waggulu ddala. Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n'ensi Mukamaa waffe osaana kwagalwa.
Balabe abalabe bange baaliridde omutego wempita, ngudde mumpologoma ez'ama
ddu ezikavvula abantu abakattagga basimyeyo ekinnya banjokye mulwatu, bakigwe
mu, bakigwemu nnyini baffe olumbe. Nze nno nsaasira, nze nno nsaasira Mukama
wange Katonda wange Ddunda omuyambi
newogomye mu ggwe nywedde. newogomye mu ggwe
Mulwanyi wange Ddunda omukuumi
Muyinza w'oli W'oli ate nze
wange newogomye mu ggwe nywedde. Mulwanyi wange newogomye mu ggwe Ddunda omukuumi
wange newogomye mu ggwe nywedde. Muyinza w'oli newogomye mu ggwe W'oli ate nze
ntya ki? newogomye mu ggwe nywedde. okutuusa omuyagalwe gunayita, omuyaga
lwe gunayita, omuyaga. amazima manyi, sserimba, ssirimba,
ssserimba ggwe ompanirira. Omwoyo gwange mugumu ddala, naayimba,
naayimba nga bwe nkuba endongo. Mwoyo gwange tewebaka, mwoyo gwange tewebaka, nazuukusa
amaliiri. Ndikutenda nenkuyimbira ggwe Katonda mu mawanga ne mu bantu
bo, emirembe gyonnaa. Ekisa kyo kye ntenda kinene ddala, kikoma eyo waggulu ddala;
n'obwesigwabwo bukoma ddala eyo ku bire. Ayi Katonda
werage ddala bw'osinga eggulu n'ensi, n'ekitiibwa kyo kibeere ku nsi
ku nsi yonna, amiina amiina amiina
amiina amiinana.
Bass ne Tenor
Zibasanze abo abategeka okukola eby'enziro. Zibasanze
abakeesa nga bategeka ekibi. Zibasanze, zibasanze otulo
betubula nga beekoba ekibi. Obudde okukya kye baasobola nga bakituukiriza.
Beegombye nnimiro eyo nga bagitwala, beegombye nnyumba
eyo nga banyaga; beegombye bugagga eby'obusika nga banyaga.
Zibasanze mmwe, zibasanze mmwe wulira Omukama agamba: Laba, laba
nteekateeka okuzikiriza eggwanga lino ebbi eggwenyufu, temuggyemu nsingo zammwe yadde
okutambula nga mwegolodde, eno ssaawambi. Nja kubakunnganya mwenna abantu
bange buli omu gy'ali, buli omu yenna. Mmwe ggwanga lya Yakobo bamula
bannaku, abatono ddal, ba kawonawo. Nja kubakunnganya mu kisibo kimu;
ng'Omusumba mu kisibo kye. Tewali anabatiisa. Nabalokola.
Pharaoh ajja nga yekunkumula
Abayudaaya batuyinze ddala ddala, bangi bulala nnyo. Yee, laba
Abayudaaya batuyinze bangi bulala nnyo; omulabe bw'anatulumba
ssi kulwanga beegatta naye ffenna ne batusaanya. Mubakozese emirimo
egy'amaanyi baafe, baggwemu amanyi basaaanewo. Buli kaana akazaalibwa nga kalenzi
mukatte konna, obuwala bwo mubuleke temubutta, bunatuweerezanga; muwulidde?
Wayiya, wayiya, wayiya nfudde ennaku. Wayiya, wayi
ya omwana w'obulenzi aluma bubitazaalika. Bagobe, bagobe
bugobi ssebo tobatta. Okuzaalabangi Katonda y'agaba.
Tetujja kubagoba, abaddu tubeetaaga. Aa
tetujja kubagoba; njagala kino, tukeendeeze
omuwendo gwabwe. Kye nngambye kibeere kityo.
Woowe, woowe, woowe, woowe, woowe ennaku y'ensi ng'entuu
ennaku y'ensi ennaku y'ensi ng'entuuse ku mutima; agase
ku mutima
naasigala engalo ensa. Abaaami baffe bafiira mu nnimiro.
Bafiira mu nnimiro, bakulusana awatalikuweera.
Hi! nga kitalo nnyo! Emigongo gitumyansa
gitumya
gitwewese ng'omutego, abaana baffe babasse ba
nsa gitwewese,
bamazeewo. Ani anatusikiranga tuggwowo nga tuggwawo!
tuwaanjaga gy'oli, tuwanjaga gy'o
Tuwanjaga gy'oli, tuwanjaga gy'oli
li Katonda waffe gw'omusaasizi tusaasire, tusaasire, tuzikiriranga
tetulina musango. Ffe abantu bo tuwonye to
tuzikirira tuzikirira
twabulira. Jjukira endagaano yo ey'olubeerera.
Ssinga, ssinga, ssinga Omukama teyali naffe, teya
ssinga, ssinga,
li naffe banditumize, banditumize abalabe baffe, banditumize;
bandituwemmense ne tuggwawo. Banditumizenga tulaba. Owa
abatukyawa banditumizenga tulaba. Obusungu
bwali bubalya, nga bubumbujja ng'omuliro. Bwali buba
obusungu,
lya obusungu bwali bubalya. nga bubumbujja
nga bubumbujja
ng'omuliro. Jjangu Omukama n'otuyamba jjangu Omukama
nnyini buyinza totusuula twesiga ggwe.
Soloist ava ebweru n'akulembera
Mukama wange, Mukama wange, ggwe oli omu wekka jjangu onnyambe, laba ndi bw'omu,
ndi bw'omu, ndi bw'omu, ndi bw'omu, ndi bw'omu jjangu onnyambe ddala ndi
bw'omu. ndi bw'omu, ndi bw'omu, ndi bw'omu, jjangu onnyambe ddala ndi
Ndi bw'omu, ndi bw'omu
bw'omusirinayo mulala, sirinayo mulala okuggyako ggwe. Jjangu onnyambe laba ndi
bw'omu ndi bw'omu. Obulamu bwange bwonna mbutwalira awo mu ngalo, naatera okuta,
naatera okuta; nze mbuwaddeyo bwonna. Sirina musango Ddunda Mukama wange.
Sirina musango n'akamu, neekuma nnyo Katonda wange obutazza misango nze n'akamu.
Banyigiriza okuva obuto bwange, abalabe banyigiriza, laba batuuse
munda mu maka ga Kitange, abankyaye banyigiriza. Nnyamba, nnyambalaba
nzirukira gy'oli ayi Mukama, ggwe ngabo yange, ggwe lwazi lwange, omufungamye obulokofu
bwange ng'ababi abo banyigiriza. Ssi ggwe walonda Israeli mu mawanga
gonna? Ssi ggwe walonda bajjajjaffe okuva ddi na ddi? Wabalondamu babeere
obusika bwo, okuva ddala olwo, obayisa bonna nga bwe walagaanya.
Tuukiriza, tuukiriza, tuukiriza endagaano yo Mukama waffe. E
migwa gy'emagombe gintayiza, emitego gy'olumbeginnumba, amayengo
g'olumbe gantayiza engezi ez'akabi zintiisa, naye ffe tuwonye mu maaso go ayi Mukama.
Totuwaayo, totuwaayo mu mikono gy'abalabe baffe. Totuwaayo,
totuwaayo, totuwaayo, totuwaayo mu mikono gyalubaale wabwe.
Laba tebakomye kutufuga buddu ayi Mukama, laba basazeewo okuzikiriza obusika
bwo; bazibikirize emimwa egikutenda ku nsi. Oli mutuufu gutusinze
oli mutuufu gutusinze, oli mutuufu gutusinze Mukama. Saasira ekibiina kyo
ekikweyunye, toganya ddamulayo kukwasibwa bifaananyi ebitalinana bulamu.
Tokkiriza bantu bo kusekererwa, tokkiriza bantu bo kusaanyizibwawo
Ebyo bye bateesa, ggwe bikyusize kubo. Ayi Mukama atulumba yenna
bimufuukire ekijjukizo aswaale. Nkuuma, nkuuma
nkuuma ng'emunye y'eriiso lyo. y'eriiso lyo, nkuuma mu kisiikirize
eky'ebiwawatiro byo, omponye abonoonyi abannumba. Nze Mukama wange nze
mpa amaanyi tonsuula ddala nze mpa amaanyi, Katonda wa bakatonda nze
mpa amaanyi, Katonda nannyini buyinza nze mpa amaanyi, nze mpa amaanyi.
Mukamwakano ssaamu ebigambo ebyoogi, ebisendasenda, ssaamu ebigambo mu nze.
Mu maaso g'empologoma nnyamba, newogomye mu ggwe. Obusungu bwe budde eri abo abatukyaye.
Basaanewo, basaanewo n'abo ababafaanana. Y'ayima
mu ggulu n'agolola omukono gwe n'ankwata, nanyinyulula mu mazzi amangi.
Mazima Katonda oyo mugulumiza, kubanga Ddunda abanaku ggwe obalokola
Abakanudde amaaso obabonereza. Naye ffe tuwonye, tuwonye ayi Mukama nnyamba
nnyambalaba ndi bw'omu. Abakambwe abanoonya balina obuswandi. Yee, laba nnya
Abakambwe abanoonya sirina musango. Yee, laba nnya
Abakambwe abanoonyaabalina omusango. Yee, laba nnyambalaba
ndi bw'omu. Sirinayo mulala okuggyako ggwe, sirinayo mulala
wabula ggwe wekka; obimanyi byonna, ayi Mukama ow'obuyinza atalemwa. Taata
wuliriza eddoboozi eriterebuse, eritalina buddukiro. Ntaasa, ntaasalaba
nzikirira. Ayi Katonda ntaasa ow'obuyinza obungi, omuyinza wa byonna.
Ayi Katonda mpulira mpweddemu nze amaanyi, nze nterebuse nnyo.
Bantisizza, bantisizza kyokka abalabe abange bajja kudduka; n'abankyawa
banabuna emiwabo ggwe lw'onojja okunnyamba on'obamalawo, on'obamalawo.
Scene II: Okulabika kwa Katonda
Sopr.Solo (Yekka ku stage)
Musa y'ali alunda, Musa y'ali alunda amaganaga Jethrossezaala
we. Ali mu ddungu, ali mu ddungu. Ali mu
ddungu alunda, n'agguka ku lusozi lw'Omukama Horeb.
Horeb, Horeb olutiisa. Malayika w'Omukama
n'alabika. Ali mukisaka ekibuubuuka sso nga tekiggya.
N'agamba nti: Nteekwa, nteekwa, nteekwa okugenda
nneerolere. Nteekwa okugenda nneerolere eky'amagero kino. Lwaki
ekisaka tekiggya, sso ng'ate kibuubuuka. Kisoboka
kitya? Kisoboka kitya? Kisoboka kitya?
Musa! Musa! Owange Musa. Musa owange Musa!
Nzuuno Mukama wange. Nzuuno Mukama wange.
Togeza kusembera, togeza kusembera, togeza kusembera Naanula engatto
zo, naanula engatto zo kubanga ekifo kino ky'oliko ddala kitukuvu.
Musaatya yebikka ekiremba
Nze Katonda wa bajjajjabo Ibrahimu, Izaake ne Yakobo. Ndabye embeera embi, ndabye
embeera embi embi ddala ddala mu bantu bange ababonabona mu Misri. Mpulidde, mpulidde
okukaaba kwabwe, mpulidde, mpulidde omulanga gwabwe nga bansaba mbanunule
mu buddu bwabwe. Manyi bulungi okubonabona kwebalimu. Nsazeewo, nsazeewo
okubanunula mu mikono gy'aba Misri. nja kubaggya mu nsi eyo
mbawe endala engagga, engazi ddala ennyo. Ekulukuta amata, n'omubisi ogw'enjuki omuka.
Kati eri mu Bakanaani, Bahiti, Amoriti, Periziti, Hiviziti
Jebuziti, be basulamu. Jjangu nkutume ddala mu maaso ga Farawo,
jjangu nkutume leka kutya. Nkutuma wa Farawo, ojje abantu bange mu kabenje ke Misri
Babatuntuza nnyo, babalanga gwaki? Babasiibya mu nnimiro!
Nze ani? Nze ani agenda ewa Farawo omutemu? Abaana ba Israeli,
nabaggya ntya mu Misiri? Bwe banambuuza nti Katonda akutumye y'ani?
Leka kutya Musa, leka kutya Musa. Njaakugenda naawe. Bw'olikomawo
nkukakasa, olitambira ekitambiro ku lusozi luno. Erinnya
lyange: Nze aliwo, Nze aliwo, Nze aliwo emirembe
gyonna. Katonda wa Ibrahimu, Izaake ne Yakobo. Lino ly'erinnya lyange
mu mazadde n'amazadde gonna. Kyokka mmanyi Farawo ajja kuguguba,
nja kumulaga obuyinza bwange, alirwa edda n'abata.
Siri mwogezi Mukama wange, siri mwogezi, siri mwogezi Mukama
wange. Siri mwogezi ntamatama nnyo. Natuusa ntya obubaka bwo?
Sindika muntu mulala, nze sibiyinze. sindika muntu mulala.
Musa, Musaleka kudaaalimba nze akutuma nze mpa okwogera
n'obutawulira, nja kuyamba gge ng'oyogera; era nkubulire by'oteekwa okwogera.
Nona Arooni mugandaawo, ye mwogezi mulungi y'anayogera
nga eri abantu mu linnya lyo. Nange nabayambanga muleke kutya.
Musaasisinkana Aarooni
Aluwa Mukamwange, andabikidde Mutonzi wange, aluwa? Aluwa
Katonda ow'amaanyi, mulwanyi ow'entiisa, luwangula ntalo, Ye aluwa? alu
Andabikidde Katonda wa bajjajjange, ne mpulira n'eddoboozi ery'ekitiibwa
kye! Oh! Muli mpulira ntidde nnyo nga njugumira, kyokka essanyu nkugambye,
lindi bubi olw'ebyo bye ndabye. Omukama agamba ntitudde'e Misiri.
"Eyali akunoonya okukutta lwatema dda. Genda ewa Farawo omugambe essaawa y'eyo,
leka abantu bange bagende bange bwaaya; batambire nze Ddunda nga beebaza abakuumye
ku nsi. Leka bagende. Leka bagende
bagende, bagende
Kyokka muganda wange nzira ntya'e Misiri? Nzira ntya'e Misiri? Mbeera muloge?
Misiringa yantama, yankabya agajjulujjulu. Maama y'ansiba mu kibbo ng'atidde
okuntugumbula. Nasulanga mu mpeewo ng'amazzi ge Misiri gaasamye okumizza omusu.
Ha! obukambwe bwa Farawo namuzisa1 Ha!
Ekisa ekisusse kya Ddunda atulokola! Muwala wa Farawo y'anzigya mu mazzi ne nnama.
Abantu bo bawonye essungu lyaarawo omutemu, abantu bo bawonye effuga bbi ly'omu Misiri
namuzisa. Nja kulwana. Amaanyi ga Katonda gandiko, nja kulwana.
Aarooni gira tugende. tugende, tununule baganda baffe.
Tulaga wa ssebo? Tulaga wa ssebo, nze n'abaana bange? Misiri terina kalungi
etwaalabalamu. Ssi gye wadduka Musanga bakunoonya? Kati wesize
ki? Mmalagadaaga olwa baana n'omwami ng'ababuzeeko. Ndiddawa?
Naawe mwami wange, mwami wa musaayi, abalabe bo olibaddawa? Mpulira abawaguza nga aba
bbi, mpulira abatambula ng'abatemu. Musa tunaddawa ffe leero/
Nja kulwana amaanyi ga Katonda gandiko, nja kulwana. Annumba gwe ssimanyi
y'ani? Nze neesiga Mukama annyamba; nze neesiga Mukama annyamba.
Bajja ku stage
Mponya, mponya abalabe bange abannumba, mponya, mponya abalabe bange
abannumba mponya, mponya, mponya abannumba. Mponya, mponya, mponya abajambula. MpoMponya
Mukama wange abakozi b'obubi, mponya Mukama wange abasajja b'omusaayi,
baabano baliimisa obulamu bwange. Baabano b'amaanyi bawondera, baneetolodde.
Mu nze temuli kibi Mukama wange, Mu nze temuli musango,
temuli musango. Bannanga busomi bwa ddiini Mukama omanyi ggwe. Banna
nga kigambo kyo, ne bafubutuka okunnumba. Tiwebaka Mukama wange nzirukirira.
Tiwebaka Mukama wange. Jjangu olwane Mukama wange Katonda w'amaggye,
Mukama wange, jjangu olwane. Bannumba Mukama wange bannumba
Ankuuma ye ggwe Zuukuka Mukama wange, gabonereze amawanga gonna.
Bonna baswale.
Balabe bange
Bamegguze eri
Tobasaasira, tobasaasira abasajja ab'enkwe, tobasaasira. Naye ggwe Mukama obasekerera,
naye ggwe Mukama obasekerera nnyo. Amawanga gonna
togalabamu kabuntu. Ayi obuzira bwange, ayi Katonda wange; ekigo kyange
Nnaakussako omwoyo ggwe Mukama wange; nnaakussako omwoyo. Ggwe kusaasira kwange
ompulidde mu buyinike n'onkubagiza. Ndiyimba, ndiyimbanga obuyinza bwo Mukama
wange, nze ndijaguza kumakya olw'obuyambi bwo. NdiOnfuukidde ekigo ekinywevu.
Onfuukidde ekiddukiro kyange. OAyi obuzira bwange
nnaakuyimbira kundongo Mukama wange, nnaakuyimbira kundo
ngo, kigo kyange. ngo, mu kwesiima ewa Kitaffe gy'ali mu ggulu.
ansaasidde.
nze mpangudde.
ACTII: Okubonabona kw'aba Israeli
Duet Bakyala Ku migga gye Misiri
Ku migga gye Misiri, ku migga gye Misiri gye twatuu
Ku migga gye Misiri, ku migga gye Misi
langa tulira. Ku migga gye Misiriri
A A A A
Mu nzibaziba z'eyo mwe twawanika endongo zaffe. Abalabe
baffe batunyoma, bakudaalira ffe nebaziimuula, baatulabya eza
Kyobe ne batusaba tuyimbe; ku migga gye Misiriku
migga gye Misi
ku migga gye Misiri owa Baatusaba ennyimbari,
ku migga gye Misiri owaza
Sioni Ha! tu
eza Sioni Ha!
yimba tutya oluyimba lw'Omukama mu nsi engwiira. Tuyimba tutya
tuyimba tutya ennyimba z'Omukama mu nsi engwiira.
Ayi, Ayi Ayi Ayi Muwala we Misri namuzisa.
Wamukisa alikusasula ennaku enkumuz'otulabizza.
Wamukisa, wamukisaaliddira obwana bwo
n'abuuntula ku njazi. Jeruzalemu, Jeruzalemu
onnumya omwoyo. Jeruzalemu, kikafuuwe okukwerabira.
Obanga nkwerabidde, omukono gwange gwerabirwe gukale
nyabula, gwerabirwe, gwerabirwe gukale nyabula. Obasikujjukira,
olulimi lunkwatire ku mimiro. Obanga
Jeruzalemu ssi gwe nkiza, ssi gwe nkiza buli ssanyu lyonna
Jeruzalemu, Jeruzalemu onnumya omwoyo
onsanyusa okusinga byonna. Ayi ayi Mukama jjuki
Jeruzalemura
olunaku olw'ono Jeruzalemu. Tiwerabira, ti
werabira baana bo, ne Jeruzalemu ekibuga kyo.
Chorus: Bakitaffe baweddewo
Oh1 bakitaffe baweddewo ne bannyaffe bawulu
ba dda. Tujeera ku nsi tuli bamulekwa. Tuli mu kukaaba agajulujulu,
agajulujulu. Oh! Mukama laba ekitugwiridde
Tutunuulire olabe bwetufeebezebwa. Obusika bwaffe
abagwira babututte, babunyaze buwedde. Ennyumba zaffe bifulukwa abakafiiri
bazinyaze nyabula, abakafiiri bazinyaze. Tubungee
tamu nsozi, mu bibira; n'amazzi obuzzi gasasulwa, n'enku zaffe nazo
tuzisasula. Oh! Mukama laba ekitugwiridde, ddala Mukama
otwerabidde? Tosobola kutwerabira mirembe namirembe,
mirembe na mirembe, mirembe na mirembe. Ekikkoligo ku nsingo
zaffe kituli bubi, batubonyabonya okukamala; batukozesa kutuzisa
awatalikuweera. Bakitaffe bayonoona ne baggwawo,
ne baggwawo tebaliiwo, baggwawo ffe twetisse emisango gyabwe,
egitunyiga okukamala Abaddu laba batufuga. Tewali
n'omu, tewali n'omu abatuwonya tunadda wa? Tunadda
wa abaffe! Anti n'okufuna akamere wessa mu kabi. Kibakwanganga kitala
kya mu ddungu. Omubiri gwaffe gubuguma ng'ekyooto, olw'omusujja
gw'enjala. Emitima gyaffe mirwadde. Amaaso gaffe
gazibirira; naye gwe Mukama osigalawo emirembe
gyonna. Namulondo yo ya mirembe gyonna gyonna gyonna.
Oh! Oh! Owa abakyala baffe babanonye! N'abawala
embeerera baboonoonye. Obwana obuto babutta. Obulenzi bwaffe butondokera
mu kwetika enku enzito ennyo. Abavubuka babakozesa
ng'abaddu mu kusa engano. Bazeeyi baffe babonyebonye nnyo
ne bakatagga, nabo tebalutonde. Bajjajjaffe be bayonoona
ne batwalibwa ezzirakumwa, nebazikirira okumu okkumu.
Ffe twetisse omusango gwabwe, lwakki? Lwakitubungabunga bwe tuti?
Abaddu baffe babo batufuga. Tewali, tewali
tewali ffe anatutaasa. Obwaffe bukomye, essanyu liwedde!
Chorus: Katonda Abatumidde
Katonda wa bajjajjammwe Izaake ne Yakobo abatumidde.
"Oyo aliwo" y'andabikidde n'antuma bino: "Ndabye engeri embi ennyo
Abamisiri gye babatuntuzambi nnyo, nkyamu nnyo
nunndu. Ntesezza okubanunula ntesezza
okubanunula mu mikono gyabwe. Mmaliridde nja kubanunula,
nja kubanunula mbatwale mu nsi ekulukuta,
ekulukuta omubisi ogw'enjuki, ekulukuta omubisi
ogw'enjuki; nja kugolola omukono nze mbalokole. Naakola ebitiisa eby'obwenanya
nze mbalokole. Munaaba bantu bange nange nemba Katonda
wammwe. Munaaba bantu bange nange nemba Katonda wammwe."
Solo: Katonda Ayogera
Munywere bantu bange, munywere. Munywere abantu bange munywere. Temutya
mmwe munywere temutya mmwe munywere; temutya nywere eyabawa erinnya nze mbagamba.
Eyabawa erinnya nkyabakuuma. Zibasanze ababalabya ennaku ababi abo.
Zibasanze abasanyuka nga zibasanga, bakankane, bakaankane abasanyuka nti mugudde.
Ebibuga byabwe ebyatuntuza abato bammwe. Bikankane, zibasanze
n'ekibuga kyabwe mwe bafiira, kikankanenga gye baakomya okusanyuka nga zibasonga.
Nennaku yabwe gy'enekoma, banagisanga, mu kibuga kyabwe. Enebakabya,
gwebaleke banakiraba. Ggwe nno Jeruzalemusagambiza.
Tunuulira ebuvanjubaweerolere. Laba essanyu eriva ew'Omukama lituuse mu ggwe.
Sagambiza, sagambiza, sagambiza abaana bo banakomawo gy'oli. Abaana bo ne
betambulira, banakomawo baabo banadda, banadda okuva ebuvanjuba
n'ebugwanjuba. Kyenjogedde kijja kutuuka ssirimba
kyenjogedde kya mazima nnyo. Sanyuka anti ekitiibwa ky'Omukama kinakubikka.
Yee, ggyako ekiremba eky'ennaku. Ggyako ekiremba eky'okukaaba, kyaki? Ssaako omunagiro ogw'ekitiibwa
ntuuse Katonda wo. Ngobye nkutwaala mu ssanyu lyerere. Sagambiza, nkututte
mu kitaangaala ekimasamasa kubandi mwenkanya, era ndi wa kisa.
Chorus: Katonda wa Bajjajja
Katonda wa bajjajjaffe
Katonda wa bajjajja Ibrahimu Izaake
ne Yakobo Katonda wa Ibrahimu, Izaake ne Yakobo atenderezebwe, atenderezebwenga
emirembe. Anti ajjukira endagaano
ye ey'emirembe gye y'akuba ng'alayirira Ibrahimu, Izaake ne Yakobo
ng'abasuubiza okubaggya mu Misiri, abawe Canaani bube busika bwaffe
Atenderezebwenga atatusudde. Atenderezebwenga ennaku
zonna. bwenga, agulumizibwenga emirembe gyonna.
Mwenna mwebaze Omukama, mukowoole erinnya lye. Mubulire amawnga ebikuuno byonna by'akoze.
Mwenna erinnya ly'Omukama muliwe ekitiibwa. Musanyuke abalungi. Mumunoonye nga mujaguza.
Obuyinza bw'Omukama mubutende, bungi. Buli kimu akituusa. Kyeyalagira kikolebwa
Amaanyi muganoonye ew'omuyinza Ddunda. Mufube okunyweza Kitaffe bye yagamba.
Bikuuno by'akoze oyo mubijjukire nammwe. Ennamula yeeyo ntuufu mugikwate
Duet: Musa ewa Farawo
Farawo kabaka wa Misiri. Nantalemwa Farawo
kabaka wa Misiri, magurunnyondo. mukama akugambye, Katonda
wa Israeli "Leka abantu bange bagende Farawo, leka abantu
bange bagende." "Bagenda mu ddungu, bagenda mu ddungu bakuze
embaga yabwe, bagenda mu ddungu, bagenda mu ddungu.
Musa? Musa, Musa Katonda ki oyo gw'oyogerako
abaffe? Misiri erina bakatonda baayo. Katonda ki oyo
gw'otubulira abaffe? Nze Farawo gw'olaba ndi muzzukulu wa balubaale
gwe bassawo. Ate oyo Katonda wa Israeli y'ani?
Y'ate nno nze Farawo nsobola ntya okugondera Omukama nze gwe simanyi?
Era mbakumumanya, kikafuuwe okuleka abaIsraeli, okunvaako.
Biveeko, biviireko ddala; biveeko,
biviireko ddala biveeko.
Katonda, Katonda oyo owa Bayudaaya ye y'antumye okukugamba: "Abantu bangebaleke
bagende obagaza ki? Abantu bangebaleke bagende obaagaza
ki? bawe ennaku ssatu bagende mu ddungu bagende mu ddungu batambirire
oyo Mukama wabweera Katonda wabwe. Baleke bagende mirembe. Bw'onoogaana
kawumpuli tomuwone, bw'onoogaana ekitala kinakulya.
Musane Aarooni muzannya n'ani? Musaaga n'ani? mubaddeki? Abantu
mbaggye nze ku mirimo egyange, mbu bagenda kweggwera! Musaaga n'ani? Mubadde
ki? Emirimo gye gibabuze mpozzi kwe kudongwa n'ebyo. Munandaba akanfaamu!
Munyamuke mugende mukole. Munyamuke muli banafu
nnyo. fu nnyo mmwe nno, abaddamu ggayalo. Laba abamawanga
batuyinze obungi, beyongera omuwendo nyabula tebakendeera.
Mubame amazzi, temubawa ssubi. Bakole amatoffaali nga temubawa ssubi.
Mubaleke, mubaleke benoonyezenga omuddo. Kyokka omuwendo gwo tegusalwa ogwa ma
toffaali ogubaddewo. Banafu, banafu nnyo, kye bava badongwa mbu tugende
mu ddungu tutambirire Katonda! Nyabulamubongere emirimu bave ku bulimba.
Temubasaasira, temubasaasira bazze mu lugambo.
Musa addamu obubaka "Farawo"
Musajja Farawo afuusengo! "Temubawa ssubi, temubawa ggezi bagende mu nsiko be
noonyeze omuddo; kyokka amatoffaali agabasalirwa bateekwa buteekwa okugaweza!"
Hi! Mukama waffe Musa okoze ki? Otwonoonye
tunaddawa! Tunaddawa Farawo ataamye zitusanze ezasanga
lumondemu ttaka. Kale Omukama atulamule. Ggwe otukyayisizza
ewa Mukama waffe Farawo, tumuwunyira ffumbe. Ye ggwe kanaluzaala.
Ye ggwe kabisomba. Ggwe otadde ekitala
mu mukono gwe atuwemmente. Musa otukoze ki?
Musa ng'otusse. Musa otukoze ki?
Musa, Musa ng'otusse zitusanze tuweddewo.
Solo: Essaala ya Musa
Lwaki, lwaki Mukama oyisa bubi abantu bo Lwaki,
lwaki wampa obubaka buno obuzibu? Nnazza gwaki nze
okuntuma eri abantu bo? Lwaki, lwaki Ddunda
wansindika? Kasooka ntuuka ewa Farawo, okwogera nze
mu linnya lyo, abantu bo beyongedde kubanyiga na kubatulugunya!
Lwaki, lwaki Ddunda wansindika? Abantu
bo nga batuntuzibwa kale okozeewo ki? Kale okoze ki?
Abantu bo nga bagwa enganzi, kale okoze ki okubalokola?
Mujja kulaba kye nnaakola Farawo sibalimba. Ke nnamukwatako,
n'omukono gwange ogw'amaanyi anabagoba. Mumuleke mmwe, ke nnamukwatako
n'omukono gwange ogw'amaanyi, anabagoba ng'atiribira.
Chorus: Ebibonyobonyo bye Misiri
Okubalaga obuyinza Ddunda bwe nnina, nja kusookera ku mazzi ngatabangule,
gabafuukire omusaayi gabakaayire; n'ebibeeramu byonna bife lwakabi.
Musa n'akuba amazzi ne gamyuka gonna, n'ebibeeramu byonna nebifa lumu.
Tufudde, tufudde enkalamata enzita. Tufudde, tufudde
enkalamata enzita. "Obamufa mufe, nze Farawo sijja kuganya,
Musa by'asaba. Nze nngaanyi" Musa n'addira olubatu lw'evvu eryasuze
n'alikasuka mubire ne litaambula okutemula ebisolo n'abantu ne batandika
okuvaamabwa. Yonna Misiri yawunya nnyo n'edaaga; n'abalaguzi ba Mis
ri ne balwala ne basaba. "Tufudde, tufudde amabwa agakyuma; tufudde,
tufudde amabwa agakyuma." "Obamufa mufe, nze Farawo
sijja kuganya, Musa by'asaba. Nze nngaanyi" Musa n'addira omuggo
n'agugolola, n'agukubisa ettakalizaale ebiwuka. Nebijoonyesa Abamis
ri n'amagana; n'abalaguzi ba Misri ne bakitya. N'ensowera zabayigganya
okukamala. Ne Farawo n'ajugumira, n'ayita Musa, n'alagira bamwamuke.
Mugende, mugende mirembe, Katonda wammwe
mumusanyuse nga mumutambirira. Musigalemu nsi muno
temugenda wala. Olumala nga mukomawo.
Ekyo ssi kituufu Mukama waffe. Ekyo ssi kituufu n'akamu kuba
ebitambiro bye tumuwa Katonda waffe, mmwe Abamisiri mubyenyinyala.
Mwanditukubye n'amayinjanga mubirabye. Ffe tugenda mu ddungu
mutulekese. Ffe tugenda mu ddungu ennaku ssatu be ddu,
mutulekese tutambirire Ddunda ye nga bw'alagidde.
Ha! Musa obaddeki anteteza engeri eyo. Nviira, ndagidde
nviira. Tuddanga, bw'olikomawo olulala oli wa kufa.
Oyogedde bulungi, sijja kudda. Oyogedde bulungi
sijja kudda. Oyogedde bulungi, oyogedde bulungi sijja kudda.
Sijja kudda gwakubiri, zzinaakusaanga.
Omuziraa ogw'amaanyi gwava mu ggulu, gwatta ebisolo bingi era n'ebimera.
Enzige kabejja nayo n'esituka. Ne zirya buli kibala ekyali kikuze.
Abazaana ba Farawo bamulabula. "Ssebo tolaba nsi yo bwezikirira, baleke bagende.
Ssebo tuli mu nzikiza n'emisana yonna, baleke bagende tuzikirira."
Obamufa mufe nze Farawo sijja kuganya Musa by'asaba, nze ngaanyi.
Zibasanze, zibasanze mmwe, wuliraa Omukama agamba: Laba, labanteekateeka
okuzikiriza eggwanga lino ebbi eggwenyufu. Temuggyemu
nsigo zammwe yadde okutaambula nga mwegolodde, eno ssaawambi.
Nja kubakunganya mwenna abantu bange, buli omu gy'ali buli omu
yenna. Mmwe eggwanga lya Yakobo namulaba nnaku. Abatono ddalaba
kawonawo. Nja kubakungaanya mu kisibo kimu, ng'omusumba mu kisibo
kye. Tewali, tewali anabatiisa, naabalokola.
Mukama mugulumiza nnyo. Katonda wange eyanganza oyo eyaansi
ka gy'ali nataganya oyo balabe bange abo kunsekerera. Asaana atendebwe, asaanira
kutendwa Mukama eyampulira bwe nnamuyita. Eyanzigya mu buya
n'amponya ekikwanga ky'abebikka emagombe mu buya. Mukama mumuyimbire
ettendo lye. Mmwe mulyekole erinnya lye ettukuvu. Mmwe mulyebaze. Amina amiina
atwagala kufa, Amina amiina atwagala kufa, ndaba, obusungu bwe buyita mangu
Ekisa ekikye kisigalawo emirembe gyonna. Ekiro bwe kijja n'ennaku,
emisana kuba kwejaga, ziba nseko. Bwampanirira Mukama sinyenyebwa. Olw'ekisa
kyo ky'ompa nze mba mugumu; naye bw'onkweka amaaso go gwe nga nterebulanga
ntiribira. Kitange yanguwa okunnyamba, gy'oli nze gye nzirukidde, gye nzirukidde.
Mugende, mugende mirembe mugende. Katonda
wammwe mumusanyuse nga mumutambirira. Ye mugenda bameka?
Ffenna tugenda, abakulu n'abato, ffenna tugenda. Abalenzi
n'abawala, ffenna tugenda. Ebisolo n'amagana
byonna bigenda. Entujjo y'omukama gye tugendako. Ekyo kyetegeeza.
Tugenda kweggwera, tugenda ku ntujjo.
Nkukutte Musa olimba! Nkizudde Musa olimba, olina Musa
ky'okweka. Kale abato obatwalira ki? Nedda, nedda
abasajja mwekka mmwe mubamugenda musinza. Mbeera okusinza
kwe kubalumaa. Abasajja mwekka mmwe mubamugenda musinza.
Recto Tono (Kitontome)
Guno omwezi gwa byafaayo mu bulamu bwammwe; gunaabanga mwezi ogusooka mu kubala kwammwe.
Buli maka gagule akaliga ka mwakagumu. Kabuzi oba kaliga akasajja akatasobye,
Mukatte lwa gguloggulo, omusaayi gwako mugusiige ku mifuubeto gye nnyumba zammwe;
akaliga mukalye kalamba ngakookye, n'emigaati egitazimbulukuse, n'enva ezikaawa.
Temutereka kantu n'akamu akafisse. Ebisigalawo mubyokye byonna. Mukalye mangu
nga mwesibye ekimyu n'engatto za musaasaane, miggo mu ngalo, kuno kuyita kwa Mukama;
mwanayitira mu Misri, ng'atta abaggulanda. Luno olunaku mulukuzanga mu mazadde gonna.
Wiiki nnamba temukolanga mirimo, mpozzi ogw'okufumba n'okulya. N'eyo mu nsi endagaanye mwe mugenda
nayo mulukuzanga, nayo mulukuzanga, kwe kuyita kw'Omukama.
bantu Baaniriza Amawulire Ago
Ggwe ddala ddala oli wa buyinza, gwenziringana Katonda wange muzirakisa atasangwa
muyinza wa byonna, nnyini bulamu, kiddukiro kyaffe atuwanguza amawanga gonna to
gooka. Ggwe eyabeerawo nga n'ensi yonna, ensozi zonna tezinnabaawo
okuva emirembe n'emirembe Ggwe Katonda waffe. Omuntu ggwe omuzzaayo mu nfuuu
ng'olagira, muddeyo, muddeyo mmwe abaana b'abantu mu ttaka mwe
mwava. Oli wa buyinza wamma. Emyaka lukumi mu maaso go, giringa olwa
jjo olwakayita Mukama wange, giringa ekiro ekyakayita, tozanya
obamalawo nga beebase abazigu, okukeera ku nkyanga balinga omuddo ogukyukakyuka
kumakya kuti gudda buto, webuzibira obudde nga guwotose guweddewo!
Tuyigirize, tuyigirize tubale bulungi ennaku zaaffe.
N'amagezi g'omutima gwaffe geyongere. Komawo, komawo, Mukama
on'odda ddi? Saasira abaweereza bo ffenna. Kumakya kuti
tujjuze ekisa kyo, ennaku zaffe zonna zijjuze ekisa kyo, tuzimaleko nga tujaguza
obutamala. Tujjuze essanyu mu nnaku z'otuwa. Tujjuze essanyu ne mu myaka egy'ennaku. Nsiima,
nsiima, nsiima Katondaawange by'ompa. Leka omulimo gwo gulabi
bwe abawereza bo era n'abaana bo balabe ekityibwa ky'olina
obulabirizi obulungi obw'Omukama Katonda bubeere kufe. Bukole mu ffe
emirimo gy'engalo zaffe, gituukirire nnyo, nnyo.
Solo: Akaliga ka Paska
Batudde, akaliga akawujje, ekikompe ky'evviini
Ggwe Katonda waffe omuyinza wa buli kantu; ggwe eyatonda byonna ku
lw'ekityibwa kyo. Abantu bonna ggwe obawa emmere emala, era n'eky'okunywa
wamu n'obulamu. Olwa bino byonna tukwebaza nnyo, kubanga
oyinza byonna, byonna biva wuwo. Oweebwe ekityibwa mirembe n'emirembe.
Oweebwe ekityibwa eky'olubeerera.
Mutoole mulye, ke kaliga ka Paska.
Tweyanzizza, tweyanzege nzege. Aweebwe ekityibwa, emirembe gyonna.
Yahwe aweebwe ekityibwa Katonda waffe.
Mutoole munywe ku vviini ye Misiri.
Ekiwandiiko kya Farawo kisomwa
Mugende mangu mangu, muve mu nsi yange. Mugende musinze KAtonda wammwe.
Mugende, byonna mubitwale, abantu bammwe, bisolo byammwe, ebintu byammwe;
mugende. Bwe muva mu nsi eno munaaba mumponyezza; naaba mbawonye.
Yee, amiina amiina, tununuddwa, yee, tununuddwa. Tumwebaze Omuka
Tumwebaze Omukama
alokola. Yee, tununuddwa ddala ddala ffe tununuddwa. Yee, tununuddwa.
maasobola. Yee, tununuddwa ddala ddala ffe tununuddwa. Yee, tununuddwa.
Chorus: Muteeketeeke Entujjo
Muteeketeeke entujjo, muteeketeeke entujjo, muteeketeeke entujjo
n'amatabi agajudde ebikoola by'emiti. Muyise ekivvulu okwebaza Katonda
by'akoze enkumu, ha! Katonda w'amaanyi asaana kwagalwa. a
Muyise ekivvulusaana
kwagalwa, asaana kwagalwa Omukama ye mulokozi wange
Mukama muwangunzi erinnya lye mutabaazi, mutabaazi erinnyamutabaazi
lye mutabaazi, erinnya lye mutabaazi. Abalabe bange bantaayizza babakambwe
ntaayiza, nga balinga enjuki ezisaalabantaayiza, bamema buliro mu maggwa, nadda
bakambwe bakambwe, bakambwe
wa nze nadda wa, nze nadda wa, nze nadda wa zinsanze. mbu nno ngwe
Bansindika bambu
nno ngwe, mbu nno ngwe. Basindisa obuswandi, bansindisa obu
nsindika, bansindika
swandi mbu nno ngwe. nababetenta, naye mu linnya
Naye mu linnya ly'Omukama,
ly'Omukama nababetenta, naye mu linnya ly'Omukama nabazisa, nabazisa,
nabazisa. ampanguza
Mukama ge maanyi gange bwe bulokofu, Mukama ge maanyi
ampanguza ampanguza
gange y'ampanirira, Mukama buzira bwange ye Mulokozi Mukama ge maanyi
ampanguza
gange y'ampanirira, Mukama ampanguza nsi ye Mulokozi nze mwesiga ku
Omukama ng'annyamba, Omukama ng'annyamba.
fa. Bwe banyigiriza, bwe mba nterebuka,
Bwenugumira, bwe mba nterebuka,
Mu ssaawa ey'akabi, mu budde obw'okufa,
Anyweza ne nguma, yampa obuwanguzi,
Ddyo w'Omukama ddyo w'Omukama ansi
maanyi g'alina ga kitalo, maanyi'alina gansusso
tudde, ddyo w'Omukama, tega
tendwa, ddyo w'Omukama, Ndayidde
ndayidde, ndayidde
sijja kufa nja kulama, sijja kufa nja kulama.
Ndirojja, ndirojja
ma ebikuuno by'Omukama by'atukoledde, ebikuuno by'Omukama
Ye muyambi ow'amaanyi Mukama Katonda. Nja kumwebaza
by'akola mu bantu. Bwe buzira bw'abangi abesiga Katonda.
Ye Mulokozi w'abo abesiga Katonda.
nja kumwebaza Omukama, namuyimbira; namuyimbira, nmuyimbira kundo
ngo namuyimbira. Bwe y'ambonereza Taata teyanzita. Nnyu
Nga ngudde mu kabi Taata y'ansaasira.
mba ya Yakobo egambe, nnyumba y'Aaroni k'egambe Yi
okusaasira kwe kwa mirembe gyonna, okusaasira kwe kwa mirembe
mba Kelezia ogambe, Munzigulire emiryango
gyonna okusaasira kwe kwa mirembe gyonna. Omulyango gw'Omukama
egy'obutukuvu, nze mwemba mpitangende okwebaza Katonda Tubawa kati omukisa
omutukuvu, nze mwemba mpitangende okwebaza Katonda
ffe nga tuyima mw'eyo ennyumba y'Omukama eyeyoleka abantu. Ggwe Katonda wange andokola
nze nkwebaza, nkwebaza Katonda Ddunda atulokola. Nkwebaza, nkwebaza,
nkugulumiza nnyo nkutenda. nkugulumiza nnyo nkutenda.
Chorus: Sanduku Y'endagaano Etuuka
Oluyimba lwa Musa
Mukwate amafumu n'engabo mmwe abalwanyi b'Omukama. Obulwa butuuse Omukama
afungizza katwesike ku lw'Omukama. Ssemotya, embalaasi n'omwebagazi abakasuse
mu nnyanga be ddu. Omukama mumegganyi, muwanguzi, ge maanyi gange
bwe bulokofu, luyimba lwange nze, mugulumiza ntakera. Katonda wange. Katonda
wa Kitange. Mugulumiza, mugulumiza nga ntenda.
nda, nga nsinza, nga nnyimba emirembe gyonna.
Mukama muwanguzi atalabwa. Erinnya lye mutabaazi. Farawo n'amagaali abikasuse
mu nnyanja, laba abebagazi bazikiridde, basse ku ntobo ng'ejjinja, tebalutonde
Baggaliddwa bonna ebuziba kasooka batta. Babakubye ku nsolobotto. Omukono
gwo ogwa ddyo ayi Mukama nga gwa buyinza! Gumenyemenye omulabe. Kabalabe, baswaale
mu buyinza bwo obakinyeko abalabe bo. Bagudde, obamaliddeko obusungu
bwo ne bubookya ng'ebisubi, ne baggwawo, ne babula. Bwe wafuuwa ku mazzi negeetuuma,
mugga ogukulukuta ne gwetuuma. Amayengo ku mazzi ne ga
kwata; ne gakwata, negeetuuma ng'empagi. Mukama muyinza!
Wulira Farawo ebigambo bye by'agamba: "Ka mbawondere, nja kubasangamba
tobazze, Kibuyaga, kibuyaga n'akunta,
zze, nabazza" kibuyaga, kibuyaga n'akunta n'aku
ennyanja n'ebamira!
ntaatalabwanga. ne bebbika ng'ekikomo mu mazzi ageswanta. Mukama oli wa buyinza. G
to Chorus below
3a. Mukama oli mukulu, oli wa buyinza ani akwenkana?
b. Mukama oyitimuse ebikuuno byo wonna by'ogerwa.
c. Mukama wagolola omukono gwo bonna baamirwa.
d. Mukama oli wa kisa abazaana bo ffenna twalama.
e. Mukama akulembera abalonde bo mu nju gy'osula.
f. Mukama oli Kabaka, tuli babo ffenna twatula.
Katonda ani? Mukama wange, Katonda ani, ani akwenkana?
Alleluya, alleluya, tununuddwa. Tununuddwa, tununuddwa.
Chorus: Mukama Asitudde
Otyo, otyo, Mukama asitudde abalabe be kababune emiwabo. Mukama asitudde
azze, azze abalabe be kabazine oluguje. Mukama asitudde. Mutabaazi,
mutabaazi, erinnya lye mutabaazi, mutabaazi.
Situdde asitudde
bamulabyeko akaga Omuwanguzi ntalo. Kababune emiwabo
Situdde asitudde si
abalabe be enkumu, bakwatibwe ensonyi abamukyawa. Abamukyawa bamwetegule
nga bukyali. Batabunkana ng'envumbo, gabawedde
batabunkana ng'envumbo gabawedde, basaanuka ng'envumbo ku muliro. Ababi
abonoonyi bwebazikirira batyo. Mu maaso g'Omukama Katonda
abatuufu
basanyukira mu Katonda, ne bajaganya mu maaso ge
abatuufu abatuufu
beesiimira mu Katonda, abatuufu beesimira mu Katonda abatuufu
beesiimira mu Katonda nnyini abatuufu basanyukira mu Katonda ne beesiima
ne basanyuka, ne bajaganya, ne bajaganya mu maaso g'Omukama, mumuyimbi
ne beesiima ne beesiima
re Katonda ow'edda. Mumuyimbire ku ntongooli
zitujje, zitujje
mumuyimbire ku nnanga Katonda ow'edda. Mwaliire, mwalire ekkubo, zireeta;
ng'ayitayita mu ddungu, mujaganye w'ali erinnya lye kkulu ddala ddala, mujaganye
w'ali ye Mukama Katonda w'amaggye. Ye kitawe wa bamulekwa.
kirungi nnyo
bannamwandu y'abalabirira, asula eyo mu ggulu ddala
kirungi nnyo atumbidde
mu kisulo ky'ekitukuvu y'ategekera enju n'abasuuliddwa
asukkulumye kirungi nnyo
abasibe abaggyayo eyo mu kkomera mu kujaguza, abatuusa mu ssanyu, abajeemu
bokka be babeera mu nsi ey'ebbugumu. Ayi Katonda
bwe wafulumanga ng'okulembera eggwanga lyo mu ddungu, ensi yayuguma.
Eggulu nalyo lyavulula, ne Sinayi yajugumira.
Awali Katonda n'ensi eno yajugumira. Awali Katonda
ne Sinayi yajugumira. Ensi yayuguuma, eggululiyuguma,
ne Sinayi yajugumira. Baalaba amayingira go ayi Mukama,
baalaba amayingira go mu kitukuvu gy'obeera. la. be bakulembera ennyiriri
Abayimbi
abatongooli, be bakoobera emabega. Mu makkati abawala ne basimbakonga
bakuba obugoma, nga bayimba nga bazina nga babuuka. Agulumizibwe
Omukama Omutonzi waffe, Omulokozi waffe agulumizibwe Omukama.
Ye Katonda waffe,
Omuyinza y'oyo,
ogitutte gyonna.
Agulumizibwe Omukama atuwonya n'olumbe agulumizibwe Omukama
Agulumizibwe Omukama mu bibinja by'asoma agulumizibwe Omukama
Bwakabaka bw'ensi, obwakabaka bw'ensi, omuyimbire
Omukama, muyimbire Omukama
bwakabaka bw'ensi mmwe muyimbire oyo Katonda, mumuyimbire ng'ali
ku ntongooli
nnya, mumuyimbire ng'alinnya, mumuyimbire ng'ali
ku ntongooli, ku ntongooli
nnya, oyo atwalibwa eyo mu ggulu mumuyimbire ku nnanga. Eddoboozi lye ery'amaanyi
alitadde liwuluguma. Mutegeere, mutegeelitekemula.
re obuyinza bw'Omukama n'ekityibwa kye eyo mubire. Mutegeere, mutegeere
obuyinza bw'Omukama n'ekityibwa kye, Katonda atiisa mu kitukuvu kye
y'awa yennyini eggwanga lye obuyinza n'obuzira. agulumizi
Kabaka
bwe, agulumizibwe, agulumizibwenga Katonda.
Kabaka Kabaka
Nga wayise esatu emyezi okuva mu Misri, abalamazi ne bagumba
okumpi n'olusozi oluyitibwa Sinayi.
agulumizibwe, agulumizibwe, agulumizibwenga Katonda.
Kabaka Kabaka Kabaka
Katonda n'agamba Musa nti: "Mwetegeke, mwetegeke ku lw'okusatu,
ngenda kujja ku lusozi luno. Nga mwennamulaba, tukube endagaano
mufuuke bange kaswa. Kye mbakuutira, temugeza okwambuka ku lusozi."
Babukeereza nkokola nga bagobyedda, ku lusozi lw'Omukama olutukuvu.
Musa n'akulemberamu abatuuse waali nannyiniggulu n'ensi eno.
Mmambya ng'asala atyiwaliwo ebikuuno mu ggulu ne mu bbanga. Eggulu ne lyabikamu,
lyata ne lyekanga, ne libwatuka nnyo, lyatya ne lyekanga; ebimyansobyali wali!
byajja olwo lwatuuka; ekire ekikwafu, kyategeeza bw'atuuse; nekibikka amaaso ge
kyategeeza bw'atuuse; olusozi lwonna, lwatya ne lwekanga; Mukka gwalubikka,
gwategeeza bw'azze. Ekkondeere, ekkondeere balifuuwa n'amaanyi, bonna ne batiribira.
Mukamatasaaga "Mwerabirako mwenna kye nnakola abe Misri, Mukama sisaaga.
Nze Katonda ow'amaanyi nabaleeta nga mpungu ne mbatuusa ku ddembe.
Bwe muwulira eddoboozi lyange, mulibeera bwe mutuusa n'endagaano yange,
bange bannono
mu mawanga gonna, emirembe gyonna, mulibeera bange,
mulibeera bange be mmanyi,
mulibeera bange ab'olubeerera. Nze Katonda wammwe, tewali Katonda mulala
okuggyako nze. Ebiragiro ekkumi mubikwate biibino, bye bibalaga ekkubo
erituuka gyendi, mubikwate byonna. Byonna by'olagidde,
byonna by'otugambye tujja kubituusanga emirembe n'emirembe gyonna.
Chorus: Essaala Ya Joshua (Nehemiah)
Ky'ekyo otenderezebwenga; ky'ekyo, otenderezebwenga Katonda w'amaggye Ssebo.
Emirembe gyonna, emirembe n'emirembe gyonna. Atenderezebwe, atenderezebwe
emirembe gyonna, gyonna, ddala erinnya lyo ligulumizibwenga, ligulumizibwe.
Ky'ekyo, ligulumizibwenga, ky'ekyo, ligulumizibwe, anti
lissusse n'amatendo gonna gonna, ligulumizibwe, ligulumizibwe, li
ssusse n'amatendo, erinnya lya Katonda, ligulumizibwe ligulumizi
lissusse n'amatendo, ligulumizibwe,
bwenga; erinnya lya Katonda ligulumizi
Kituufu ali omu, ali omu, ali omu, Mukama waffe ali omu
ali omu, ali omu Mukama waffe ali omu.
ali omu, ali omu
Eyatonda eggulu lino n'alitereeza ali omu. Eyatonda ensi gyenda
ba ne byebazaali omu. Eyakola ennyanja n'ebyo ebigirimu
ali omu Mukamawange ali omu. Ali omu atugabira obulamu.
Eggulu lino n'ensi byeyale okusinza Ddunda abiwangawo nga biyimba obutamala.
"Ky'ekyo atenderezebwenga, ky'ekyo atenderezebwenga Katonda. Ddunda,
Ddunda, Ddunda, Ddunda, atenderezebwenga Katonda. Ddunda Mukama wange atenderezebwenga
katonda emirembe gyonna. Ayi mukama Katonda waffe.
Ggwe walondawo musajjawo edda Abramu bwe wakimanya nti musajja wammizi
era nga mwesigwa. Wakuba naye endagaano ey'olubeerera, n'omuwa Kanaani,
n'amawanga ag'emiriraano gabeere obusika bwo; gabeere
obusika obw'olubeerera. Gara. ekyo n'okituukiriza ayi Mukamakubanga
oli mwesigwa. Ky'ekyo, osaanira kutendwa, ky'ekyo, Ssebo
oli mwesigwa. Oli mwesigwa Ssebo, oli mwesigwa emirembe gyonna.
Watunuulira ennaku n'okusinda kwa bajjajja mu Misri okutatadde. Wawulira
za okukaaba kw'abangi. mu nnyanja ey'emmuli n'okola ebikuuno, n'okola ebikuuno
mu maaso ga Farawo oyo omuwalanye nnyini; bonna abantu be Misri nebibanyi
ga okukamala antiwali omanyi ggwe bwe babayisa obubi nkugambye, n'obunyoomi
bwabwe obw'olubeerera. Kw'olwo wekolera erinnya erikyaliwo, erikyaliwo okutuuka
leero. Anti wabamanya bwe bayisaobubi ddala n'obunyoomi bwabwe obw'olubeerera.
Ennyanja eyo, bonna abantu,
waggyawuzaamuwabiri; nga bonna batunula.
mu nnyanja omwo, bonna bantu,
baasomoka nga wakalu, baasomoka nga wakalu.
Ky'ekyo, atenderezebwenga, ky'ekyo, atenderezebwenga, atenderezebwenga, atenderezebwenga
emirembe n'emirembe emirembe n'emirembe emirembe n'emirembe
gyonna. Gyonna emirembe gyonna, gyonna emirembe gyonna gyonna
gyonna gyonna gyonna. Amiina, amiina, amiina.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.
Pieces in this work
Each piece has its own page with just its pages of the score.
- Leka Abantu Bange Bagende (title song) — Leka Abantu Bange Bagende
- Ayita Chorus — Leka Abantu Bange Bagende
- Bass ne Tenor — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus — Leka Abantu Bange Bagende
- Scene II: Okulabika kwa Katonda — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet (2) — Leka Abantu Bange Bagende
- Aria — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Mponya — Leka Abantu Bange Bagende
- ACT II: Okubonabona kw’aba Israeli — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Bakitaffe baweddewo — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Katonda Abatumidde — Leka Abantu Bange Bagende
- Solo: Katonda Ayogera — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Katonda wa Bajjajja — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet: Musa ewa Farawo — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus (2) — Leka Abantu Bange Bagende
- Solo: Essaala ya Musa — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Ebibonyobonyo bye Misiri — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet (3) — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus (3) — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Zibasanze — Leka Abantu Bange Bagende
- Solo: Essaala ya Musa (2) — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet (4) — Leka Abantu Bange Bagende
- Paska — Leka Abantu Bange Bagende
- bantu Baaniriza Amawulire Ago — Leka Abantu Bange Bagende
- Solo: Akaliga ka Paska — Leka Abantu Bange Bagende
- Ekiwandiiko kya Farawo kisomwa — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Muteeketeeke Entujjo — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Sanduku Y’endagaano Etuuka — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Mukama Asitudde — Leka Abantu Bange Bagende
- Duet: Sinai — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus (4) — Leka Abantu Bange Bagende
- Chorus: Essaala Ya Joshua (Nehemiah) — Leka Abantu Bange Bagende