Lyrics
Lugendo lunene Mukama y'amanyi,
obulamu obwo ku nsi lugendo lwa kufa.
Lugendo luzibu wamma lugendo,
lugendo lunene lunene ssi lwangu.
[Bwot'omutuuka?] Katonda wo olugendo terukoma.
Bw'omutuuka Katonda wo olwo olugendo nga lukoma.
Obulamu bw'olina lugendo lwa kufa,
bw'otuuka gy'olaga nga lukoma.
Anti oluzaalibwa ggwe n'olutandika,
emyaka gy'omala gibeera gya kufa.
Mubuno obw'okufa ggwe mw'oyita,
n'ogenda gy'olaga mu bw'olubeerera.
Okufa kulungi kwa bo abamwagala Mukama,
kulinga omulyango mwe bayita okusisinkana Kristu.
Kristu abatuusa eri Kitawe.
Mukama gw'omanyi bw'oba omusenze nga okyali ku nsi n'eri bwe guliba.
Obulamu bw'olina nabwo yabukuwa era akulambika gwe nywera beera [mwe?].
Ebirungi by'olina ku nsi eno bikoma kyokka ebiri eri byo tebikoma.
Bw'oba ng'onyikira era nga wegayirira olibeera wuwe walumbe n'akoma.
Mukama atalemwa era omuyinza bw'ofa ng'omwagala [obaomutuuse?].
Yee bwe tulituuka tulisanga yo Mukama n'atuwera.
Yee bwe tulituuka tulisanyuka nnyo kubanga tuliba babe.
Yee ffe abamusenga tuliba babe, Mukama n'atuwera.
Yee alitugamba mwe abanywererako mujje eno ne mbawera.
Yee alitusiima nti mwalumwa nnyo kyokka ne muguma nnyo.
Mmwe abantu bange njagala mbawe ku byange eby'obusika.
Bw'omalirira mu mutima ne wewayo (ne wevaamu)
olibeera eri abalungi gye babeera
emirembe gyonna, emirembe n'emirembe.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.