Mu Kristu Tuli Balamu

Composer:

Lyrics

Chorus

Kristu bwe bulamu bwaffe - Kristu kwe kuzuukira kw’abafu
Kristu bwe bulamu bwaffe - Kristu mu ye tuli balamu emirembe.

1

Tuli ba kiseera ku nsi tuggwaawo -
Tuli nga omuddo ogw’oku ttale oguliwo kati, enkya ne guggwaawo.

2

Tuli ba kiseera era batambuze
Tugenda wa Kitaffe gy’atulinze ensi eno - Tugivaako.

3

Yatununula era yatuwonya nnyo
Yatuwonya walumbe n’atuwa Mwoyo nga gwe musingo nno ogw’obulamu.

Chorus

Essuubi lyaffe liri mu ye - Liri mu ye
Amaanyi gaffe gatuli mu oyo eyatununula- Tumwekola nnyo.

Chorus

Kristu Tumwekola nnyo
Kristu Tumwesiga nnyo
Ye bwe bulamu, kwe kuzuukira buli amukkiriza:

Chorus

Ne bw’alifa aliba mulamu
Ne bw’alifa aliba mulamu.
Ne bw’alifa aliba mulamu.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections