Lyrics
Mugulumize mmwe Ddunda Katonda waffe, mwenna,
Ddunda Katonda, mugulumize mmwe Ddunda Katonda waffe.
Mugulumize mwenna, mugulumize mmwe Katonda waffe,
assukkulumye, ensi yonna,
assukkulumye ensi yonna.
Bamalayika bakutende, n'ebitonde byonna bikutende.
Okutendebwa (kubanga osaanye),
okutendebwa, okutendebwa, okutendebwa
ffenna abantu be.
Erinnya lye, erinnya lye lya kitiibwa nnyo,
lisigalawo emirembe gyonna.
Ayi Mukama olijjukirwa, olijjukirwa amazadde n'amazadde (kubanga)
okuuma ezzadde lyo n'osaasira abaweereza bo abakwesiga.
Nnyumba ya Israeli mugulumize mmwe Ddunda,
mugulumize Ddunda; nnyumba ya Aaroni
mugulumize mmwe Ddunda Katonda waffe,
nnyumba ya Levi mugulumize mmwe Omukama.
Abamusinza mwenna mugulumize Omukama,
abasinga mwenna mugulumize Katonda,
mugulumize Katonda, asaanye okutendebwa,
asaanye okutendebwa.
Agulumizibwenga, agulumizibwenga mu Sioni,
mu Sioni gy'abeera mu Yeruzalemu mwasula.
Omukama agulumizibwenga, agulumizibwenga Ddunda
mu Sioni, mu Sioni mwasula.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.