Lyrics
Mujje, mujje tusome, abaana ba Katonda b'alonze;
mmwe ggwanga lye mmwe Kristu alabika.
Mujje muyingire mu kiggwa kye,
tumusinze tumwebaze nnyinimu,
tumusinze, tumwebaze nnyinimu.
Wa buyinza, wa ttendo, Mukama Katonda ow'amaggye.
Y'atugabira obulamu n'atuzaala, kya kitalo; mu Batisimu,
y'atufuula baana fe ggwanga lye.
Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno.
Mmwe abalungi mweyanze, Mukama Katonda Mutagobwa.
Y'atumulisa amagezi n'atulonda, kya magero; ye y'asindika,
y'atuma na mmwana eri abaddu be.
Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno.
Tumutende mu nnyimba, Mukama Katonda Mutagobwa.
Ggwe abakwesiga obamanyi n'obataasa, kya mazima, obataasa,
obalunda Ddunda n'oba engabo.
Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu b'amanyi,
ffe Kristu b'amaanyi bw'atyo.
Omuyinza w'amaanyi, Mukama Katonda musaasizi.
Y'atumanyisa ebikulu ebyaliwo ng'atutonda, mu masooka,
y'atulondamu ffe ng'atwagala.
Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno.
Mmwe abatuufu b'agamba, Mukama Katonda mu nnyumba ye.
Mube batume, bakozi abantegeera, ba mazima, abalunngamu,
abantu abateefu eggwanga essomi.
Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.