Lyrics
Mutende, mutende mmwe Mukama Katonda.
Mutendereze Omukama (mulungi, mulungi),
mutendereze Omukama (kubanga mulungi),
mulungi wa kisa nnyo.
Mumuyimbire ku ndongo, mumuyimbire ku ndongo,
mumuyimbire ku ndongo.
Ettendo limusaanidde asaana, limusaanidde,
ettendo limusaanidde asaana kubanga wa kisa nnyo.
Muyimbe, muyimbe, muyimbe olwa Katonda waffe;
mulungi, mulungi, mulungi wa kisa nnyo,
mulungi, mulungi, mulungi wa kisa nnyo
era tatera kusunguwala,
tatera kusunguwala, tatera kusunguwala.
Omukama azimba, azimba, azimba Yeruzalemu,
n'akungaanya abantu be abasaasaanye.
Abamenyese abo emitima,
n'ababisiba ebiwundu byabwe.
Emunyeenye zonna (azibala), emunyeenye zonna (azibala),
emunyeenye zonna (azibala oyo) n'aziyita n'amannya buli emu.
Mukama Katonda (wa maanyi), Mukama Katonda (wa ttendo),
Mukama Katonda wa maanyi, wa ntiisa, wa ttendo,
muyinza talemwa, mukulu nnyo.
Mmwe muyimbire Omukama nga mumwebaza ku nnanga,
ku ntongooli, ku nnanga, ku ntongooli, ntongooli eyo.
Mumuyimbire ku nnanga, ku nnanga,
ku ntongooli nga mumwebaza.
Abikka eggulu n'ebire n'abitonyesa,
ategeka enkuba ettaka n'aligimusa;
ameza mu nsozi omuddo n'ebimera ebiyamba omuntu.
Agulumizibwe, agulumizibwe, agulumizibwe,
emirembe n'emirembe gyonna.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.