Lyrics
Mwenna, mwenna abajulizi baffe Bannauganda,
mwagaggya w'amaanyi agabawanguza omuliro?
Mwagaggya wa amaanyi agabawanguza ebizibu?
Twagaggya mu Yezu Omukama,
twagaggya mu Yezu Mukama.
Twagaggya mu Yezu omuzuukivu eyatuggyamu
n'atubeeramu anti y'agamba:
Alya, alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange
abeera mu nze nange mba mu ye.
Wessiri, wessiri, wessiri temusobola kantu.
Mujje, mujje, mujje mufune omugaati
ogw'obulamu, ogw'amaanyi,
ogw'obuzira agulyako y'anjulira.
Abeera mu nze, abeera mu nze nange mba mu ye.
Yezu y'atukakasa Kristu y'atugamba bw'ati:
alya emmere yange taliraba [ye?] ku lumbe,
alizuukira, alizuukira ku lw'oluvannyuma.
Ukaristia egatta abantu ne Katonda
ne bagabana anti ku bulamu bwe, ku maanyi ge;
baanya ng'ebimuli ebisimbe ku mbalama z'emigga.
Babala buli bbanga ne bafuuka bajulizi
omusingi gw'Ekelezia,
ensigo emera etegenda kuddirira.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.