Lyrics
Mujje twebaze Omukama,
Kubanga mulungi, muzirakisa,
N’okusaasira okukwe kwa mirembe gyonna.
Sirina bigambo nze bya kukwebaza, Mukama wange
Olw’ebirungi by’onkolera ng’ondabirira.
Okwegayirira okwange wakuwulira mu ssaala zange,
Okutu wakutega n’owulira nze bye nkugamba.
Amakubo n’emitego ebya sitaani nze nnabiwona
Kubanga nnakusaba okulokola obulamu bwange.
Oli mutuufu era wa kisa, Mukama wange,
Abatene n’abanaku era Ggwe tobasuula muguluka.
Mwoyo gwange, weesirikire, jaguliza mu Katonda
Weddire mu nteeko, n’ Omukama omuyimbire.
Omwoyo gwange ye yaguwonya olumbe, gwali gwa kufa,
Omukama, amaziga gange nago yagasangula.
MULI KITANGAALA (Fr. James Kabuye)
Muli kitangaala eky’ensi
Muli ttawaaza ey’amazima
Mwakirenga ensi yonna
Emanye Katonda n’obukulu bwe.
Mu kubatizibwa twafuuka baana be
Katonda n’atusindika tube batume be
Ne Mwoyo n’atuwa ffe tube ettaala
Tube kizimbulukusa mu Ggwanga lye. x2
Muli basiige mwalondwa
Mufuuse baana ab’enda emu
Mulagenga nga mwagalana
Amayisa gammwe gabe malamu.
MWENNA ABATONDE B’OMUKAMA (Fr. Kizito Mayanja)
Mwenna abatonde b’Omukama mutendereze Katonda:
Mutendereze Omukama mu nnyimba ne mu bivuga ebya buli
ngeri. x2
Mutendereze Omukama mu Nnyumba ye ddala entukuvu
Ne mu bbanga ery’obuyinza bwe.
Mutendereze Omukama olw’ebikolwa bye eby’amaanyi
N’olw’obulungi obw’ekitiibwa kye.
Mumutendereze mu ddoboozi ly’enngombe, mumutendereze,
Mu nnanga ne mu ntongooli.
Mumutendereze mu nngoma ne mu nnyimba, mu ngoye envuzi,
Mumutendereze ne mu madinda.
Mu nsaazo ez’envuga ennungi, mumutendereze mu nsaazo ez’essanyu.
Buli kiramu kyonna, kati kitendereze Katonda.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.