Lyrics
Nnaagulumizanga Omukama n’omutima gwonna!
Nja kumwagala! Nnaamuyimbiranga ennyimba
Okumwebaza, oyo Omutonzi wange.
Awulira essaala ze mmuweereza buli kadde. - Nja kumwagala
Nfukamira mu Kiggwa kye Ekitukuvu nga nsinza - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
Era ngulumiza erinnya lya Mukama wange, - Nja kumwagala
Oli mwesigwa n’ekisa kyo tekikoma. - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
Erinnya lyo kkulu, lya ttendo Mukama wange, - Nja kumwagala
Kye nkutendako, wabikuuma ebisuubizo! - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
Nga nneegayirira gy’oli mbeera mugumu - Nja kumwagala
Oyongeramu mu mwoyo gwange obuzira. - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
Bwe baliwulira ebigambo byo, Ayi Mukama - Nja kumwagala
Bakabaka b’ensi eno bonna balikugulumiza. - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
Baliyimba ekitiibwa ky’Omukama n’amakubo ge, - Nja kumwagala
Ggwe asukkulumya abeetowaze n’ofeebya abeekuza. -
Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo
Omutonzi wange.
NNAATENDANGA OMUKAMA (Fr. James Kabuye)
Nnaatendanga Omukama obudde bwonna,
Nnaatendanga Omukama obudde bwonna,
Nnaatendanga Omukama emirembe gyonna nze.
Nnaatenderezanga Omukama obudde bwonna:
Ettendo lye mu kamwa kange bulijjo.
Omwoyo gwange, gwenyumiriza mu Mukama:
Abeetowaze bawulire basanyuke.
Mugulumize wamu nange Omukama:
Tusukkulumize wamu erinnya lye eryo.
Nnanoonya Omukama, era n’anziramu,
Ye yamponya byonna bye nnali ntya nze.
Mutunuulire gy’ali mulyoke musanyuke mmwe:
Amaaso gammwe galeme kuswala.
Kale omunaku yalaajana Omukama naye n’awulira.
Era n’amulokola mu byonna ebyamuli obubi.
Malayika w’Omukama yakuba ensiisira ye.
Okwetooloola abamutya n’abawonya bonna.
Mulegeko mulabe Omukama nga bw’ali omulungi.
Omuntu amweyuna yeesiimye.
NNAMUGEREKA KATONDA (Ponsiano Kayongo Biva)
Nnamugereka Katonda omukuumi wange,
Ggwe bugagga bwe nterese,
Biri mu Ggwe byonna ebyange
Ggwe busika bwange,
Mbeerera muyambi, Ggwe aliba empeera yange,
Mukama essuubi ly’abanoonya,
Nnyweza nkuweereze, nkutuuke gy’obeera.
Jjinja ery’omuwendo erinoonyezebwa ye Ggwe, Ayi Mukama
Akusanga aba yeesiimye, Ggwe anti entabiro y’ebirungi byonna,
Sseegomba bitiibwa bya nsi eno, bugagga n’amasanyu gaayo,
Biyita kkuutwe, Ayi Mukama w’oli biba kantu ki?
Ku bakwemaliza Ggwe ssanyu ye Ggwe ddembe,
Ggwe maanyi g’abalwanyi.
Abakuweereza olibaweera, Ggwe ow’obwenkanya, Omuzirakisa,
Abakwesiga tebaliswala.
Abakweyuna abo beesiimye balimatira, balijula ki?
Balibulwa ki ate abakusenga nga Ggwe olina byonna?
Ggwe nnyini byonna, Ggwe ntabiro,
Ensulo y’ebirungi eby’olubeerera.
Nzuuno nno obulamu bwange mbuzza wuwo,
Mu kisa kyo Ggwe wantonda, nneewa Ggwe leero,
Ggwe Nnantalemwa gwe nsinza, Mukama wange,
Nzuuno nsenza mbe naawe.
Ombeereranga kikubagizo; (Tutti): Ttaala ey’okumulisa mu makubo gange;
(b) Mu lutalo lw’omu nsi muno onnyambanga:.....
N’otandeka kugwa mu mikono gya balabe bange;
(c) Onnyambanga n’omukono gwo ogwa ddyo.......
N’ompa okuwangula abalabe bange;
(d) Onnywezanga n’enneema yo eteremwa Mukama ....
N’onnyamba ne nkuweereza;
(e) Ng’obw’omu nsi buweddeko ontwalanga gy’obeera....
N’ombalira mu babo.
NZE NNEESIGA DDUNDA (Fr. James Kabuye)
Nze nneesiga Ddunda Mukama wange,
Buli ekigwawo, buli ekirijja sirinyeenya,
Nnyweredde ku Ggwe Mukama wange. x2
Mmwe ensi zonna musaakaanye n’essanyu,
Mukube emizira nga mugulumiza erinnya ly’Omukama.
Nga lisusse lya magero, nga lisusse lya magero,
N’obuyinza bwe tebuddirira.
Mmwe ensi zonna musaakaanye n’essanyu,
Mukube emizira nga mutunuulira ebikuuno by’Omukama.
Nga bisusse bya magero, nga bisusse bya magero,
N’obuyinza bwe tebuddirira.
Mmwe ensi zonna musaakaanye n’essanyu,
Mukube emizira nga mugulumiza obukulu bw’Omukama.
Nga bususse bwa magero, nga bususse bwa magero,
N’obuyinza bwe busukkirivu,
Mmwe ensi zonna musaakaanye n’essanyu,
Mukube emizira kubanga alamuza ddembe na buyinza.
Nga kirungi kya magero, nga kirungi kya magero,
N’obuyinza bwe busukkirivu.
NZE NJA KUYIMBA (Fr. Joseph Namukangula)
Nze nja kuyimba obulamu bwonna
Nnyimbira Katonda Omukama eyantonda, owange
nnyini bulamu.
Ntendereza ebirungi by’akola - Ye Nnamugereka
Nnondoola ebirungi; nga nkumu!
Kabaka ow’ekitiibwa, tolabwa
Osinga balubaale, tokirwa! - Mu bukulu bwo
Ennyanja n’ensi yabikola - Ng’abiteekawo!
Tumusinze eyatonda ffe nnyini!
Ggwe tutwale, Kabaka ow’ekisa - Ng’otulambika
Otutuuse, otuwe, ekiwummulo!
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.