Lyrics
A:
Nkugulumiza nze ntenda, ayi mukama wange atuuse,
Nkugulumiza nze nsinza, Yezu mukama wange akyadde.
Oli wakisa ggwe atwewa, ayi mukama wange ozze otya?
Nnaakugamba ki? Nnaayogera ki?
Mukama mulungi
Soprano Bass
Mugabi nnyo........ Yee (x2)
Mugabi nnyo........ Otugabira n'omubiri gwo.
Mugabi nnyo........ Yee (x2)
Mugabi nnyo ........ Otunywesa n'omusaayi gwo
Mugabi nnyo........ Yee (x2)
Mugabi nnyo........ Otutukuza abakwesiga.
Mugabi nnyo....... Yee (x2)
Mugabi nnyo........ Otufuula na baganzi bo.
Mugabi nnyo........ Yee (x2)
Mugabi nnyo.... ... Otugabula ng'otwewa
Mugabi nnyo ,....... Otugabula ffe abaavu
N'otuliisa, otuliisa otunywesa ffenna
Weebale kitaffe Ddunda ng'ogabudde, ng'ogabudde.
B:
Muzirakisa anzaala, gwenziringana ambedde....ow'obuyinza
Andiisa .....mukama wange
Andiisa naakuyimbako mukama wange,
Oli mwesigwa wansusso, abakwesiga obajuna
Abatalina ke balyako nabo obayamba
Balya ku mugaati gw'obawa ne bakutta nnyo, ne bakutta nnyo
Osumulula abasibe oyamba abeegose
Ne bamuzibe ne balaba n'abalamazi, n'abalamazi ggwe n'obatuusa
Oyamba bannamwandu...... n'enfuuzi n'oziyamba (n'enfuuzi n'oziyamba)
Ekkobo ly'ababi olitabula
Mukama wange......oyamba.....
Osaasira ggwe.........oyamba......
Oyamba abaavu.......oyamba.......
Nneyanza Mukama Yezu ....oli wakisa
Nneyanza ebirungi enfaafa......
Nnewuunya ekisa kyo ekingi......
Nkowoola abatonda bangi.......
Nkowoola abali eyo gy'oli......
Nnewuunya okukyaza Yezu......
Sakaanya omuyinza atuuse.......
Nnewuunya ekisa kyo ekingi........
Back To B, Then A, Then D
C:
Oli wakisa kyanjawulo mukama wange oli wakisa....beesiimye abakunoonya.
Oli wakisa kyanjawulo mukama wange ensi eno kyeraga....beesiimye abakunoonya, abakunoonya, abakutanda, abakunonya Ddunda obawanguza, obawanguza.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.