Lyrics

Chorus

Nneegomba nnyo nze okulaba eyantonda
Omutima gunnuma anti gunnumira oyo!
Ndimulabako ddi nze nno ne mpeera?
Ndabe eyantonda, Katonda wange, mmwagala!

1

Nneegomba Mukama, ennyota emunnumira
Omukama lwe luzzi omwoyo gwange kwe gunywa!
Nsulo y’enneema, Amaanyi agankuuma!
Bwe bulamu bwange, Omukama eyantonda.

2

Mbeera mu maziga, nkaaba bwe nnoonya;
Abalabe bannyiiza anti banjeeja,
Nti: Aluwa Katonda wo Katonda atakuyamba?
Taata: Yanguwa okunnyamba: ndi bubi!

3

Waliwo ekinkeeta ku mwoyo gwange
Njagala mmutwalire abamwagala Katonda wange;
Nnaayinza ntya nze, oba nga tonnyamba!
Mbeera, ayi Mukama, nkuweereze!

4

Lwaki onakuwala, ggwe, mwoyo, gwange?
Gumira mu Mukama, omwesigenga!
Nsinza Kitange, ntenda eyantonda!
Essanyu linzita, Katonda wange: ndayira!

5

Ekiro n’emisana, Katonda wange,
Mmubeera ku mutima eyannganza!
Nnaamusanyusanga bwe nti nga nnyimba;
Sijja kukoowa, obulamu bwange! Amazima.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.