Lyrics
Olwatuuka, ku mirembe gya Mwanga, nze mbabuulire,
ekyaliwo'e Buganda, ayi basomi bannange,
ekyaliwo'e Buganda:
Kye ky'Abajulizi abaafa, ekyaliwo'e Buganda.
Nga eddiini ezze, eyaleetebwa Yezu nno Omulokozi,
ekyaliwo'e Buganda, Mu basomi b'eddiini,
ekyaliwo'e Buganda:
Kye ky'Abajulizi abangi, abaliwo ku Myanga.
Bwe baatuuka abatume b'eddiini mu Bufirika,
ekyaliwo'e Buganda, Ku basomi b'eddiini,
ekyaliwo'e Buganda:
Kye ky'Abajulizi abattwa, ewa Kabaka Mwanga.
Abanyweza amateeka ga Yezu mu bulungamu,
ekyabagwira kikyo, Abakwasi b'eddiini,
kyabagwira kikyo:
Kye ky'okubatta bonna abo, ekyabagwira kiikyo.
Waggulu awala abaana Katonda ab'ettendo be yalinnyisa,
leero abakulu mu gulu,
ddala ku lwa Yezu bo omusaayi mu nsi eno abagubundula,
tubakulise.
Nze nguumiza, ntenda Abazira abaana abo Abafirika,
era abalungi mu ngeri;
kati ku lw'enneema ey'obuzira n'amaanyi
babali wali be Bajulizi.
Alleluya, alleluya abalenzi abaaka enneema,
Abatuukirivu.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.