Lyrics
Omutonzi w'ensi buli bbanga,
oli wa kisa Mukama wange ggwe;
nze nnakwebaza ntya buli ssaawa ggwe andabirira.
'Kuva obuto ompanirira n'amaanyi go Ddunda.
Buli kimu ompanirira,
buli kimu Ssebo, ompanirira.
'Kuva obuto ompanirira ndi ku bubwo sitya.
Birungi byo sibibala bisingako essubi.
Bulamu bwo ongabirira ndi mulamu ntemya.
Namenya ki? Naleka ki? Bulijula ki Ssebo?
Mwebaze Katonda mmwe abaweereza be,
mwebaze Katonda mmwe abatukuvu.
Enkulungo y'ensi n'ebigirimu ebyo Ye yabikola.
Tumutendenga nga tusanyuka
mulungi nnyo, mulungi nnyo,
mulungi asaanira kutendwa emirembe.
Neyanzizza Mukama wange,
neyanzizza Mukama wange, neyanzizza.
Ggwe by'okoze nkumu.
Oli wa kisa Ssebo.
Oli mugabi Ssebo.
Ogabirira alumwa.
Neyanzizza.
Erinnya lyo, ligulumizibwe Ddunda.
Erinnya lyo, ligulumizibwe Ddunda.
Erinnya lyo, ligulumizibwe Ddunda.
Obudde bwonna, ligulumizibwe kkulu
mazadde gonna, ligulumizibwe kkulu,
emirembe gyonna, emirembe gyonna,
emirembe n'emirembe gyonna;
okuva enjuba lwevaayo okutuusa lw'eggwa.
Erinnya ly'Omukama tulitende ffenna.
Assukkulumye amawanga gonna.
Ekitiibwa kye kiyisa eggulu lyonna,
kissukkirivu, kissukkirivu tekitendeka.
Ani oyo akwenkana Mukama waffe
Ggwe atuddeyo waggulu ewala?
Ani oyo akongoza Mukama waffe,
alingiza oyo mu ggulu ne mu nsi?
Ani? Ani akwenkana? Ani? Ani akongoza?
Omunaku nnawalulwa amusitula gy'atudde mu kkuuzi,
n'amusikayo omwavu eyo mu busa,
n'amuteeka n'abakungu ku nsi,
n'amuteeka wamu n'abakungu ab'eggwanga lye.
Eyali omugumba, asula mu nju gye bamuzimbidde
kaakano afuuse muzadde,
omuzadde ow'abaana omusanyufu.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.