Lyrics
Omwoyo gwange gugulumiza Katonda eyantonda
Ssabawanguzi Mukama wange mugulumiza nnyo.
Katonda wange nze namuyimbako wonna,
ennaku zonna zendimala nga ndi mulamu ntemya.
Mukama wange, Katonda wange,
nze naakugulumiza ennaku zonna.
Katonda wange (nze nkugulumiza),
Katonda wange (nze nkugulumiza),
Katonda wange (nze nkugulumiza),
Katonda wange (nze nkugulumiza).
Ku maliiri, nze nkugulumiza,
bwe buziba, nze nkugulumiza nga bulaba.
Ossukkulumye (bitonde byo Ssebo,)
byonna ebintu (birabo byo Ssebo).
Nkutenda, nze nkwewuunya (oli wa kisa),
nkutenda watonda ensi (etibatiba),
nkutenda omanyi byonna,
nkutenda obunye wonna (obisobola,)
mu ggulu ne mu nsi.
Nfumbye, nfumbye embaga yange,
mujje nze nnaabaliisa.
N'abataliina ke muguza
mujje mmwe nabaliisa.
Nze mugaati gw'obulamu,
ogwava mu ggulu eyo.
Nze mugaati gw'obulamu emmere y'abalungi,
mmere ya kityibwa evudde mu ggulu eyo,
ekijjulo kituuse, mujje mmwe banunudde.
Yezu y'akifumbye, yazze okugabula ffe.
Muluwa? Muluwa Katonda wammwe alinze?
Atwagala okuzaama y'azze.
Emmere gy'atuwa ya bulamu, (Katonda waffe)
aliisa abaana be (Katonda waffe,)
bonna ne bakkuta (Katonda waffe).
Beesiimye, beesiimye, beesiimye nnyo Mukama wange
abo abayitiddwa ku mbaga enene ey'Akaliga,
Mukama wange abagituulako beesiimye.
Beesiimye okukamala, beesiimye abayitiddwa.
Essaawa etuuse Yezu okugabula.
Omugaati gw'obulamu guuguno,
ogwava mu ggulu ogw'obulamu.
Ekikompe ky'obulamu kikino,
ekyava mu ggulu eky'obulamu.
Agulyako n'akinywako talifa,
nze ndimuzuukiza oluvannyuma.
Omugaati gwange y'ennyama yange,
Ekikompe kyange gwe musaayi gwange
kya kulya ddala, mujje mulye, ssirimba,
kya kunywa ddala, mujje munywe abayonta.
Agiryako abeera mulamu,
akinywako abeera mu nze nange ne mba mu ye.
Nze mbeera mu ye,
nze mbeera mu ye andya oyo abeera mu nze.
Tulabira wa atwewadde Omulangira olwaleero.
Tusiimye, tusiimye.
(Ffenna) tukwewa, (ffenna) tukwewa, (ffenna) tukwewa, (ffenna) ffenna.
Tuli ggwanga lyo ennaku zonna.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.