Ulrika Mass I (Fr. Expedit Magembe)

Composer:

Lyrics

Chorus

Saasira:
Ayi Mukama Ggw'omusaasizi,
ayi Mukama Ggw'omusaasizi.
Ayi, ayi Kristu Ggw'omusaasizi.
Ayi Kristu Ggw'omusaasizi.
Oli musaasizi Kristu oli musaasizi,
oli musaasizi Kristu oli musaasizi.

Chorus

Ekitiibwa:
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.
Ekitiibwa kibe eri Kitaffe Katonda,
ne mu nsi eno emirembe.

1

Tukusinza, tukutenda tukugulumiza,
wakola bya kitiibwa nnyo weebale.

2

Yezu Kristu Omwana wa Katonda,
Akaliga ka Katonda Kristu Omwana wa Kitaffe.

3

Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire,
tusaasire wulira okwegayirira kwaffe.

4

Ggwe atudde ku gwa ddyo gwa Kitaffe,
tusaasire Mukama Katonda.

5

Kubanga ggwe Mutuukirivu wekka,
Ggwe Mukama wekka Yezu Kristu Ggwe osukkulumye.

6

Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu,
mu kitiibwa ekya Katonda Patri,
Amiina.

Chorus

Alleluia:
Alleluia, alleluia, alleluia, alleluia.

1

Mutendereze Omukama wano mu nnyumba ye,
mumutendereze olw'ekitiibwa kye.
Mutendereze Omukama wano mu nnyumba ye,
mumutendereze oyo nnyini bulamu.

2

Mutendereze Omukama olw'ekitiibwa kye,
mumutendereze olw'obulungi bwe.
Mutendereze Omukama olw'ekitiibwa kye,
mumutendereze Katonda w'amaggye.

3

Mutendereze Omukama mmwe abatonde be,
mumutendereze omutonzi wa byonna.
Mutendereze Omukama Katonda atalemwa,
mumutendereze olw'obukulu bwe.

4

Mutendereze Omukama mu nnyimba ezinyuma,
mumutendereze asaana kwagalwa.
Mutendereze Omukama mu ddoboozi ery'awamu,
mumutendereze nga muliwamu.

Chorus

Nzikiriza Katonda Omu:

1

Nzikiriza Katonda omu, (Nze mukkiriza)
Taata Omukama omuyinza (nze mukkiriza)
eyatonda eggulu n'ensi, (nze mukkiriza)
ebirabika n'ebikisiddwa. (nze mukkiriza)
Nzikiriza n'Omwana we omu, (Omununuzi)
Yezu eyatulokola ffe (Omununuzi)
eyazaalibwa Maria omubeererevu (Omununuzi)
ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. (nze mukkiriza)
Nzikiriza Katonda wange. (Oyo Namugereka)
Katonda w'amawanga gonna. (Nantalemwa)
Lugaba nannyini buyinza. (nze mukkiriza)
Mukama nannyini bitonde. (Omutonzi)

2

Eyabonaabona ku bwa Pilato
ku musaalaba n'afa n'akka n'emagombe (Nze mukkiriza)
nga wayise ssatu y'azuukira n'adda, (nze mukkiriza)
n'alinnya ewa Kitawe mu ggulu gyali (nze mukkiriza)
ku gwa ddyo ewa Kitawe kwatudde (nze mukkiriza)
aliva eyo n'adda bw'atyo n'alamula (nze mukkiriza)
aliramula abalamu n'abafu (nze mukkiriza)
obwakabaka bwe tebuliggwawo. (bwa lubeerera)
Nzikiriza Katonda wange. (Oyo Namugereka)
Katonda w'amawanga gonna. (Nantalemwa)
Lugaba nannyini buyinza. (nze mukkiriza)
Mukama nannyini bitonde. (Omutonzi)

3

Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu (Mwoyo mukkiriza)
era Omukama atuwaa obulamu, (nze mukkiriza)
asibuka mu Kitaffe ne Mwana [ffe?] gwetusinza ekimu n'abo. (nze mukkiriza)
Eyayogerera mu balanzi edda (nze mukkiriza)
era nzikiriza Klezia omu omutukuvu (nze mukkiriza)
asibuka mu batume (nze mukkiriza)
Katolika abunye ensi yonna. (nze mukkiriza)
Nzikiriza Katonda wange. (Oyo Namugereka)
Katonda w'amawanga gonna. (Nantalemwa)
Lugaba nannyini buyinza. (nze mukkiriza)
Mukama nannyini bitonde. (Omutonzi)

4

Njatula ne Batisimu emu (Ddala njikkiriza)
etusonyiwa ebibi byaffe (ddala njikkiriza)
nindirira okuzuukira kw'abafu (ddala nindirira)
n'obulamu obw'emirembe egirijja. (nze mbukkiriza)
Nzikiriza Katonda wange. (Oyo Namugereka)
Katonda w'amawanga gonna. (Nantalemwa)
Lugaba nannyini buyinza. (nze mukkiriza)
Mukama nannyini bitonde. (Omutonzi)

Chorus

Akaliga:
Akaliga, Akaliga, Akaliga ka Katonda,
tusaasire. (last time: tuwe emirembe.)
Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire,
otuwe emirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.