Lyrics
Wuuno laba atuuse,
Yezu azaaliddwa.
Wuuno laba atuuse,
leero atuzaaliddwa.
Noe! Noe! Noe!
Yezu azaaliddwa,
Noe! Noe! Noe!
Yezu azaaliddwa.
Ensi yalindanga Omulokozi okujja.
Twali tuwabye ffenna, Omulokozi okujja.
Ye wuuyo Omwana wa Katonda omu gw'azaala.
Yefudde omuntu atulokole.
Mujje tumusinze, mujje tumusinze.
Ensi yaali eri etya, Omulokozi okujja?
Yali mu kusinza nte, Omulokozi okujja.
Ye wuuyo Omwana wa Katonda omu gw'azaala.
Yefudde omuntu atulokole.
Mujje tumusinze, mujje tumusinze.
Ensi yayuuguuma, Omulokozi lw'aajja;
emmunyeenye y'oli azze, Bamalayika abazibu.
Be baabo Omwana wa Katonda omu b'aleese.
Beesiimye abantu abalunngamu.
Mujje tumusinze, mujje tumusinze.
Mu ssanyu ery'ensusso, ka tumwebaze lw'aazze.
Tulina kimu kyokka, okumwagala omuzira.
Ye wuuyo Omwana wa Katonda omu gw'azaala.
Yefudde omuntu atulokole.
Mujje tumusinze, mujje tumusinze.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.