Lyrics
Malayika n'alabika ng'ava ewa Kitaffe Katonda n'agamba nti:
Temutya mwenna, temutya mwenna,
mbaleetera amawulire agasanyusa.
Temutya mwenna, temutya mwenna,
malungi ag'essanyu ddala erinaakwata abantu bonna.
Olwa leero, olwa leero, olwa leero, olwa leero,
lwa leero mu kibuga kya Daudi
Omulokozi abazaaliddwa, abazaaliddwa,
abazaaliddwa ye Kristu Mukama.
(Akabonero ke) munaasanga, munaasanga
Omwana omuwere azingiddwa mu bugoye.
Azazikiddwa mu mmanvu ye Messiya.
Amangu ddala, amangu ddala eggye eryomu ggulu,
Bamalayika obutamala ne batenda Katonda nga basaakaanya:
Yee (ky'ekyo), yee, ekityibwa kyonna, kyonna, kyonna,
kibe mu ggulu eri Katonda,
n'emirembe, n'emirembe gibe ku nsi
ku bantu bayagadde atyo, bayagadde atyo.
Tugende, tugende Betelemu,
e Betelemu, e Betelemu tulabe
ebifuddeyo Mukama by'atugambye.
Azaaliddwa, azaaliddwa, azaaliddwa,
azaaliddwa Ye Messiya.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.