Lyrics
Yezu ow'obusaasizi saasira ensi eno.
Tusabye okuganja gy'oli, tukusinza ffe.
Saasira ffe abaana bo twasobya Yezu.
Tuzze okusiima naffe otuwembejje.
Bangi mu ffe tusabye Nnyaffe Maria
atuwe okuganja gy'oli,
tufune enneema ayi Yezu.
Mujje mmwe tumuyimbire,
Yezu omusaasizi
Ye anatuwa enneema ey'enjawulo.
Mujje mmwe tumuwereze,
Kristu omusaasizi
tusembere ku mmeeza y'Omukama.
Ensi yonna emusinze,
Yezu omusaasizi
tumusabe amaanyi ag'enjawulo.
Fukamira osabe ggwe
ensi eno emumanye
ffenna abatonde ku nsi, tumuyimbire.
Muwerezenga Yezu ne Nnyaffe akujune.
Sitaani bw'aba ng'azze,
fukamira osabe.
Omusaayi gwo gwayiika
olw'okuba ffe ku nsi,
otufiirira ffe ffenna era otulokole,
ensi eno enunulwe.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.