Bamalayika Bakutende

Composer:

Lyrics

Chorus

Ebibinja bya Bamalayika bakutende Katonda,
Bakerubini, Baserafini bakutende Katonda,
kisaanira ddala buli ssaawa,
amatendo go okulangirirwa.
Hosanna Katonda waffe, hosanna wagulu eyo.

1

Beesiimye Bamalayika abo abalaba ekitiibwa kyo,
beesiimye nnyo abalaba amaaso go nga batengenya,
bamasamasa nnyo ng'omuliro, bakutenda bonna.
Ggwe omukulu asinga, ne bayimba bonna emirembe gyonna
nti erinnya lyo ettukuvu ligulumizibwe.

2

Beesiimye Bamalayika abo abayimba e Bethlemu,
beesiimye nnyo abalaba Omwana wo nga basaakaanya,
Yezu Omwana wo ku nsi azaaliddwa. Bakutenda bonna.
Ggwe omukulu asinga, ne bayimba bonna emirembe gyonna
nti erinnya lyo ettukuvu ligulumizibwe.

3

Beesiimye Bamalayika abo abalaba ng'oli mu nnaku,
beesiimye nnyo abalaba ennaku zo bo anti bamugumya,
balaba ye bw'asinda ekitalo. Bakutenda bonna.
Ggwe omukulu asinga, ne bayimba bonna emirembe gyonna
nti erinnya lyo ettukuvu ligulumizibwe.

4

Lwalikomawo Bamalayika abo balyejaga (be bajaga),
baliteekateeka Ggwe ow'ekitiibwa w'olamulira
be baliggula enzigi, nga Kabaka ow'ekitiibwa avaayo atulamule.
Abantu bonna balikungaana (abantu bonna)
balikungaana mu maaso ge.
Abalungi n'abatwala, n'abatwala mu ssanyu ery'olubeerera.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.