Missa Tukutendereza (Fr. James Kabuye)

Composer:

Lyrics

Chorus

Ayi Mukama
Ayi Mukama omusaasizi saasira.
Saasira, Kristu omusaasizi saasira.
Ayi Kristu omusaasizi saasira.
Ayi Mukama omusaasizi saasira.

Chorus

Ekityibwa

1

N'emirembe ku nsi, ku bantu bayagadde atyo.

Chorus

Tukutenda, tukusaamu ekityibwa Ddunda,
wakola bya kityibwa nnyo webale.

2

Tukutenda, tukugulumiza, tukusinza, tukusaamu ekityibwa.

3

Ayi Mukama Ggwe Katonda, Kabaka ow'omu ggulu Katonda Patri,
omuyinza wa buli kantu.

4

Ayi Mukama Ggwe Omwana, azaalibwa omu yekka, Yezu Kristu.

5

Ayi Mukama Ggwe Katonda, Ggwe Akaliga ka Katonda
Omwana wa Patri.

6

Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire,
Ggwe aggyawo ebibi by'ensi wulira okwegayirira kwaffe.

7

Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Patri,
Ggwe atudde ku gwa ddyo tusaasire.

8

Kubanga ggwe Mutuukirivu wekka, Ggwe Mukama wekka,
Ggwe ossuukiridde wekka, Yezu Kristu.

9

Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu, mu kityibwa kya Katonda Patri,
Amiina, amiina, amiina.

Chorus

Nzikiriza Katonda Omu
Nzikiriza Katonda omu.

1

Patri omuyinza wa buli kantu, eyakola eggulu n'ensi,
na byonna ebirabika, n'ebitalabika.

Chorus

Nzikiriza nze Patri eyantonda,
nzikiriza ne Mwana eyandokola,
nzikiriza ne Mwoyo Mutukuvu eyantukuza.

2

Nzikiriza Mukama waffe omu Yezu Kristu,
Omwana omu atyi owa Katonda Patri gw'azaala,
nga n'emirembe gyonna teginnabawo.

3

Ye Katonda ava mu Katonda, Kye kitangaala ekyava mu kitangaala,
Ye Katonda ddala ava mu Katonda ddala omu atyi.

4

Yazaalibwa buzaalibwa, teyatondebwa.
Ye ne Patri mu bwa Katonda be bamu ddala, byonna, Ye yabikola.

5

Oyo, ku lw'okubeera ffe abantu olw'okutulokola,
yava mu ggulu n'akka, n'afuna omubiri mu Bikira Maria
ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n'afuuka omuntu.

6

Era olw'okubeera ffe, yakomererwa ne ku musaalaba
n'abonabona ku mirembe gya Pontio Pilato, n'aziikibwa.

7

N'azuukira ku lw'essatu nga bwe kyali mu biwandiiko,
n'alinnya mu ggulu, atudde ku gwa ddyo ogwa Patri.

8

Alijja ogwokubiri n'ekityibwa okulamula abalamu n'abafu,
obwakabaka bwe tebuliggwawo.

9

Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, Omukama, awa n'obulamu,
ava mu Patri ne Mwana.

10

Ggwe tusinza awamu ne Patri ne Mwana,
ne tumugulumiza kimu bulijjo, eyayogerera oyo mu balanzi ab'edda.

11

Nzikiriza Batismu emu, esonyiwa ebibi byonna,
ate nnindirira okuzuukira okw'abafu,
n'obulamu obw'emirembe egiriggya, Amiina.

Chorus

Mutuukirivu
Mutuukirivu, mutuukirivu oyo.
Mutuukirivu, mutuukirivu oyo.
Mutuukirivu, Mukama Katonda w'amagye, mutuukirivu,
Mukama Katonda w'amagye, mutuukirivu.
Ekityibwa kyo kijjudde eggulu n'ensi.
Hosanna waggulu eyo.
Oyo ajja mu linnya ly'Omukama atenderezebwe, atenderezebwe.

Chorus

Akaliga
Akaliga ka Katonda ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire.
Akaliga ka Katonda ggwe aggyawo ebibi by'ensi, tuwe emirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.