Lyrics
Oli musaserdooti emirembe gyonna,
mu lubu olwo olwa Melekisedeki emirembe gyonna.
Oli musaserdooti (emirembe gyonna),
oli musaserdooti emirembe gyonna,
mu lubu olwo olwa Melekisedeki emirembe gyonna.
Ndayidde sigenda kwejjusa (oli musaserdooti).
Oli kabona awereza Katonda
ebitambiro n'ebitone ebimusanyusa.
Oli kabona (kabona waffe),
oli kabona ddala emirembe gyonna,
agatta Katonda n'abantu,
oli kabona.
Sikyabayita baddu wabula mikwano gyange,
enfiira bulago byonna bye naggya ewa Kitange
nange nabibamanyisa.
Musigalenga mu mukwano gwange, muli bange ba ndagaano
yalubeerera, endagaano yange ey'olubeerera,
tegenda kudiba ya mirembe gyonna.
Nabalondamu muli bange,
muli bange ba ndagaano,
mbasiize n'omuzigo ogw'essanyu
muli basiige bange be nnonzemu.
Mwoyo Mutukuvu ababeeremu n'obuyinza bwe,
mulangirire evanjili mu bitonde byonna.
Munaababulira okukwata bye ngamba;
mubatukuzanga, amasakramentu gonna nga mugabawa.
Mubawerezanga timwerabira,
mukolenga kye njagala.
Mweveemu mbayise, mweveemu mbayise,
mweveemu mbayise leero; mwenna.
Sirikuleka mukwano gwange
bw'olikwata bye ngamba, sirikuleka.
Siridibaga ndagaano yange,
sirimenyawo nze bye nnalayira.
Nalayira lumu sikwenyakwenya; sirikuleka.
Sirikuggyako mukwano gwange nze nnalayira,
bw'olikwata bye ngamba
omukwano gwange gulikubeerako.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.